YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 49

49
Obunnabbi bw'okununulibwa kwa Isiraeri
(49:1—57:21)
1Mumpulirize, mmwe ebizinga;
era mutege amatu, mmwe amawanga agali ewala.
Mukama yampita okuva mu lubuto;
okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange.#Is 44:2
2Yakola akamwa kange ng'ekitala eky'obwogi,
mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese;
era anfudde akasaale akazigule,
mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala;#Is 11:4; 51:16, Beb 4:12, Kuv 1:16
3era yaŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange;”
Isiraeri gwe ndiweerwamu ekitiibwa.#Is 44:23
4Naye ne njogera nti, “Nateganira bwereere,
amaanyi gange gaafa busa,
naye mazima omusango gwange guli ne Mukama,
n'empeera yange eri ne Katonda wange.”#Is 50:6-8; 65:23
5Era kaakano ayogera Mukama
eyammumba okuva mu lubuto okuba omuweereza we,
okumukomezaawo nate Yakobo
n'okukuŋŋaanya Isiraeri gy'ali,
kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama,
era Katonda wange afuuse amaanyi gange:#Is 52:13
6weewaawo, ayogera
nti, “Ekigambo kyayinga obwangu ggwe okuba omuweereza wange
okugolokosa ebika bya Yakobo
n'okulokola abawonye ku Isiraeri;
era ndikuwaayo okuba omusana eri ab'amawanga,
obeerenga obulokozi bwange okutuusa ku nkomerero y'ensi.”#Zab 98:3, Is 42:6, Bik 13:47
7Bw'atyo bw'ayogera Mukama,
omununuzi wa Isiraeri, era Omutukuvu we,
ng'agamba oyo abantu gwe banyooma, oyo eggwanga gwe likyawa,
omuweereza w'abafuga,
nti Bakabaka baliraba ne bagolokoka;
abalangira baligolokoka ne basinza;
ku lwa Mukama omwesigwa,
Omutukuvu wa Isiraeri eyakulonda.#Is 50:6,7; 53:3
8Bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti, “ Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu,
era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu;
era ndikuwonya ne nkuwaayo
okuba endagaano eri abantu,
okugolokosa ensi,
okubasisa obusika obwazika:#Zab 69:13, Is 42:6,7; 61:4, 2 Kol 6:2
9ng'obuulira abo abasibiddwa nti, Mufulume;
abo abali mu kizikiza nti, Mwerage.
Banaaliiranga mu makubo,
ne ku nsozi enjereere kwe kunaabanga amalundiro gaabwe.
10Tebaalumwenga njala newakubadde ennyonta;
so n'ebbugumu teribakwatenga newakubadde omusana okubookya.
kubanga oyo abasaasira anaabakulemberanga
era awali enzizi z'amazzi gy'anaabatwalanga.
11Era ndifuula ensozi zange zonna okuba ekkubo,
n'enguudo zange zirigulumizibwa.#Is 40:4
12Laba, bano baliva wala;
era, laba, bano baliva obukiikakkono n'ebugwanjuba;
era bano mu nsi y'e Sinimu.”#Zab 107:3
13Yimba, ggwe eggulu; era sanyuka, ggwe ensi;
era mubaguke okuyimba, mmwe ensozi:
kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
era alisaasira ababe ababonyaabonyezebwa.#Is 40:1
14Naye Sayuuni n'ayogera nti, “ Mukama andese,
era Mukama anneerabidde.”#Is 40:27; 54:6
15“Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka,
n'atasaasira mwana wa nda ye?
abo bayinza okwerabira,
naye nze ssiikwerabirenga ggwe.#Zab 27:10
16Laba, nkuyoze ku bibatu by'emikono gyange;
ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo.#Lu 8:6
17Abakuzimba basukkuluma abo abaakuzikiriza
n'abaakuzisa balikuvaamu.
18Yimusa amaaso go enjuyi zonna olabe;
abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli.
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama,
tolirema kubambala bonna ng'eky'obuyonjo,
n'obeesiba ng'omugole.#Kubal 14:21, Is 60:4, Yer 43:12
19Kubanga ebifo byo ebyazika ebyalekebwawo
n'ensi yo eyazikirizibwa,
mazima kaakano olibayingirira obufunda abatuulamu,
n'abo abaakulyanga baliba wala.#Zek 10:10
20Abaana abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
balyogerera mu matu go;
nti, Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
mpa ekifo eky'okutuulamu.#Is 54:1
21N'olyoka oyogerera mu mutima gwo,
nti Ani eyanzaalira bano,
kubanga nnafiirwa abaana bange, era ndi omu,
nnawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
ani eyazaala bano?
Laba, n'asigala omu;
bano baava ludda wa?”
22Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda
nti Laba, ndigololera amawanga omukono gwange,
ne nsimbira abantu ebendera yange:
awo balireeta batabani bo mu kifuba kyabwe,
ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe.#Is 11:12; 14:2
23Era bakabaka baliba bakitaawo abalera,
ne bakaddulubaale baabwe baliba bannyoko abayonsa;
balikuvuunamira n'amaaso gaabwe,
ne bakomba enfuufu ey'omu bigere byo;
kale olimanya nga ndi Mukama,
n'abo abannindirira tebalikwatibwa nsonyi.#Zab 25:3; 72:9, Is 60:3,14,16
24Omunyago guliggibwa ku b'amaanyi,
oba abawambibwa olw'ensonga baliteebwa?
25Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti N'abo ab'amaanyi be baawamba baliggibwawo,
n'omunyago gw'ab'entiisa guliteebwa;
kubanga ndiyomba n'oyo ayomba naawe,
era ndirokola abaana bo.#Mak 3:27
26Era abo abakujooga ndibaliisa ennyama yaabwe bo;
era balitamiira omusaayi gwabwe bo, nga n'omwenge omuwoomerevu;
n'abalina omubiri bonna balimanya
nga nze Mukama omulokozi wo,
era omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.#Kub 16:6

Currently Selected:

Isaaya 49: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in