YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 48

48
1Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri
era abaava munda ya Yuda;
abalayira erinnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isiraeri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.#Yer 5:2
2Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu,
era beesigama ku Katonda wa Isiraeri;
Mukama ow'eggye lye linnya lye.#Mi 3:11
3N'abuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo,
byava mu kamwa kange ne mbiranga;
nabikola mangu ne bituukirira.
4Kubanga nnamanya ng'oli mukakanyavu,
n'ensingo yo kinywa kya kyuma,
n'ekyenyi kyo kikomo;#Kuv 32:9
5kyennava nkikubuulira okuva edda;
nga tekinnatuukirira nnakiranga gy'oli;
olemenga okwogera nti, “Ekifaananyi kyange kye kibikoze,
n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.”#Yer 44:15-17
6Wakiwulira; laba bino byonna;
nammwe temulikibuulira?
Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino,
ebigambo ebyakwekebwa, by'otomanyanga.
7Bitondeddwa kaakano so si kuva dda;
era okusooka olwa leero tobiwuliranga;
olemenga okwogera nti Laba, nali mbimanyi.
8Towuliranga wadde okutegeera,
obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga;
kubanga nnamanya nga walyazaamaanya nnyo,
era wayitibwa mujeemu okuva lwe wazaalibwa.
9Olw'erinnya lyange ndirwisaawo obusungu bwange,
olw'ettendo lyange ndizibiikiriza,
nneme okukuzikiriza.#Zab 78:38
10Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza;
nkugezesezza mu kirombe ky'okubonaabona.#Ma 4:20
11Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola;
kubanga erinnya lyange bandirivumye batya?
n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.#Is 43:25, Ez 20:9
12Mpuliriza, ggwe Yakobo,
ne Isiraeri gwe nnayita,
nze nzuuyo; nze w'olubereberye,
era nze w'enkomerero.
13Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi,
n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu;
bwe mbiyita
byombi bijja.#Zab 102:25, Is 40:26
14Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire;
ani ku bo eyali abuulidde ebyo?
Mukama yamwagala;
alikola Babbulooni by'ayagala,
n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya.
15Nze, nze mwene, njogedde;
mmuyise, mmuleese, era aliraba omukisa mu lugendo lwe.#Is 45:1-3
16Munsemberere, muwulire kino;
okuva ku lubereberye ssoogereranga mu kyama;
kasookedde kibaawo, nga wendi;
era kaakano Mukama Katonda antumye n'Omwoyo gwe.#Is 45:19; 61:1
17Bw'atyo bw'ayogera Mukama,
omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri,
nti Nze Mukama Katonda wo,
akuyigiriza okugasa,
akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.
18Singa wawulira amateeka gange!
kale emirembe gyo gyandibadde ng'omugga,
n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'ennyanja:#Ma 32:29, Zab 81:13, Is 66:12, Luk 19:42
19era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu,
n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo;
erinnya lyabwe teryandisanguliddwa
so teryandizikiridde mu maaso gange.#Lub 22:17, Kos 1:10
20Mufulume mu Babbulooni, mudduke Abakaludaaya;
mubuulire mwogere kino mukirange,
okutuusa ku nkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba;
mwogere nti, “Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.”#Is 35:10; 52:9,11, Yer 50:8; 51:6,45
21Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu;
yabakulukusiza amazzi agaava mu lwazi;
era yayasa n'olwazi, amazzi ne gavaamu.#Kuv 17:6
22Tewali mirembe eri ababi, bw'ayogera Mukama.#Is 57:21

Currently Selected:

Isaaya 48: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in