YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 50

50
1Bw'atyo bw'ayogera Mukama
nti, “Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe
eri ludda wa gye nnamugobya?
Oba aluwa ku abo abammanja
gwe nnabaguza?
Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa,
era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.#Ma 24:1, 2 Bassek 4:1, Yer 3:8, Kos 2:2, Mat 18:25
2Lwaki bwe nnajja tewaali muntu n'omu?
Bwe nnayita lwaki tewaali muntu n'omu annyanukula?
Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula?
Oba sirina maanyi n'akatono gakuwonya?
Laba olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja,
emigga ngifuula eddungu;
ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi,
ne bifa ennyonta.#Kuv 7:18; 14:21, Kubal 11:23, Yos 3:16, Zab 104:7, Is 59:1, Nak 1:4
3Nnyambaza eggulu obuddugavu,
era ndibikkako ebibukutu.”#Kub 6:12
4Mukama Katonda ampadde
olulimi lw'abo abayigirizibwa,
ndyoke mmanye okugumya
n'ebigambo oyo akooye;
anzuukusa buli nkya,
azuukusa okutu kwange
okuwulira ng'abo abayigirizibwa.#Kuv 4:12, Nge 15:23, Mat 11:28
5Mukama Katonda aggudde okutu kwange,
ne ssiba mujeemu
ne ssikyuka kudda mabega.#Zab 40:6, Baf 2:8
6Nnawaayo omugongo gwange eri abakuba,
n'amatama gange eri abo abakuunyuula ekirevu;
ssaakweka maaso gange
eri abo abansekerera n'eri abo abanfujjira amalusu.#Is 53:5, Mat 26:67; 27:26,30
7Kubanga Mukama Katonda yannyamba;
kyennava nnema okuswazibwa;
kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale,
era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi.#Ez 3:8,9
8Ali kumpi ampeesa obutuukirivu;
ani aliyomba nange?
tuyimirire ffembi.
Omulabe wange ye ani?
ansemberere.#Bar 8:33,34
9Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba;
ani oyo alinsalira omusango?
laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo;
ennyenje eribaliira ddala.
10Ani ku mmwe atya Mukama,
agondera eddoboozi ly'omuweereza we?
atambulira mu kizikiza,
nga talina musana,
yeesige erinnya lya Mukama,
era yeesigame ku Katonda we.#Is 42:16; 49:2,3, Mi 7:8
11Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro,
abeesiba emimuli enjuyi zonna;
mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe,
ne mu mimuli gye mukoleezezza.
Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange;
muligalamira nga munakuwadde.

Currently Selected:

Isaaya 50: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in