Olubereberye 43
43
Baganda ba Yusufu baddayo e Misiri wamu ne Benyamini
1Enjala n'enyinnyittira nnyo mu nsi.#Lub 41:47 2Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri n'eggwaawo, kitaabwe n'abagamba nti, “Muddeyo nate, mutugulire akamere.” 3Yuda n'amugamba nti, “Omusajja yatulabulira ddala ng'ayogera nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe.’#Lub 42:20 4Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere; 5naye bw'otomukkirize tetujja kugenda; kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe.’ ” 6Isiraeri n'ayogera nti, “Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nti mulina ow'oluganda omulala?” 7Ne baddamu nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti, ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti, ‘Muleete muganda wammwe?’ ” 8Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti, “Omulenzi mukwase nze, naffe tunaasituka ne tugenda; tulyoke tube abalamu ffe, naawe, era n'abaana baffe abato, enjala ereme okututta.#Lub 42:37 9Nze nneeyamye okumukuuma; olimubuuza nze, bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna; 10kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogwokubiri.” 11Awo Isiraeri kitaabwe n'abagamba nti, “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi: ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, omugavu, n'obubaane, ebinyebwa n'endoozi.#Lub 32:20; 37:25 12Omuwendo gwa effeeza gye mwasooka okutwala mugikubiseemu emirundi ebiri, mwongereko n'effeeza eyakomezebwawo ku bumwa bw'ensawo zammwe, oba oli awo baagikomyawo mu butanwa.#Lub 42:25,35 13Era mutwale ne muganda wammwe, musituke, muddeyo eri omusajja. 14Katonda Omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja, abasumululire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.”#Lub 42:36, Nek 1:11 15Abasajja ne batwala ebirabo n'effeeza ekubisiddwamu emirundi ebiri awamu Benyamini; ne basituka ne bagenda e Misiri, ne beeyanjula mu maaso ga Yusufu.
16Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti, “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo; kubanga bajja kuliira wamu nange eky'emisana.”#Lub 24:2; 39:4 17Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yamulagira; n'abatwala mu nnyumba ya Yusufu. 18Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti, “Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; alyoke atuvunaane, atuwamatukireko, atunyageko endogoyi zaffe, atufuule abaddu be.” 19Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye nga bali ku mulyango gw'ennyumba, 20ne bagamba nti, “Ayi mukama waffe twajja wano olubereberye okugula emmere;#Lub 42:3,10 21awo bwe twatuuka mu kifo wetwasuula nga tuddayo ewaffe, netusumulula ensawo zaffe, netusanga effeeza eya buli omu ng'eri ku mumwa gw'ensawo ye; era tugikomezzaawo.#Lub 42:27,35 22Era tuleese n'effeeza endala okugula emmere; naye tetumanyi ani yateeka effeeza mu nsawo zaffe.” 23Omuwanika n'abagamba nti, “Mubeere n'emirembe, temutya; Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; naye nze nnaweebwa effeeza yammwe gye mwasasula.” Awo n'abasumululira Simyoni. 24Omuwanika n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere; n'awa n'endogoyi zaabwe eby'okulya.#Lub 18:4; 24:32 25Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yusufu ng'azze gyebali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo wamu naye ekyemisana.
26Awo Yusufu bwe yakomawo eka, abasajja ne bamuleetera ebirabo bye baali nabyo mu nnyumba, ne bamuvuunamira.#Lub 42:6 27N'ababuuza bwe baali, era n'ababuuza nti, “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu?”#Lub 42:11,13 28Ne baddamu nti, “Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu.” Ne bakutama, ne bamuvuunamira.#Lub 37:7,9, Nge 14:19 29N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti, “Oyo ye muto wammwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange!”#Lub 35:17,18; 42:13 30Yusufu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we; n'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo.#Lub 42:24, 2 Sam 18:33, 1 Bassek 3:26, Yer 31:20 31N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'agamba nti, “Mujjule emmere.” 32Yusufu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Baebbulaniya.#Lub 46:34, Kuv 8:26 33Ab'oluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yusufu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunuliganako nga beewuunya. 34Yusufu n'ababegera ebitole ku mmere ye; naye ekitole kya Benyamini kye kyasinga ebya banne byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yusufu.#Lub 45:22
Currently Selected:
Olubereberye 43: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.