Olubereberye 42
42
Baganda ba Yusufu bagenda e Misiri Okugula eŋŋaano
1Awo Yakobo bwe yamanya nga e Misiri eriyo eŋŋaano, n'agamba batabani be nti, “Lwaki mudda awo okutunula obutunuzi?”#Bik 7:12 2N'abagamba nti, “Mpulidde nga e Misiri eriyo eŋŋaano; kale muserengete mugende mutugulireyo ku ŋŋaano, tulyoke tubeere abalamu, tuleme okufa.”#Lub 43:8, Zab 33:18,19 3Baganda ba Yusufu ekkumi (10) ne baserengeta e Misiri okugula eŋŋaano. 4Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo teyamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti oba oli awo akabi kayinza okumubaako.#Lub 35:18; 42:38 5Awo abaana ba Isiraeri ne bajja awamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga mu nsi ya Kanani mwalimu enjala. 6Yusufu ye yali omukulu w'ensi; era ye yaguzanga abantu bonna emmere. Awo baganda be ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi.#Lub 37:7,9; 41:41 7Yusufu n'alaba baganda be, n'abategeera, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gyebali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'ababuuza nti, “Muva wa?” Ne baddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere” 8Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamutegeera. 9Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti, “Muli bakessi; muzze okulaba obunafu bw'ensi yaffe.”#Lub 37:5,9 10Ne bamuddamu nti, “Nedda, mukama waffe, naye ffe abaddu bo tuzze kugula mmere. 11Ffenna tuli baana b'omu; era tuli ba mazima, so tetuli bakessi n'akatono.” 12N'abagamba nti, “Nedda, naye muzze okulaba obunafu bw'ensi yaffe.” 13Ne boogera nti, “Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri (12), ab'omu nsi ya Kanani; naye muto waffe omu asigaddeyo ne kitaffe, ate omulala taliiwo.”#Lub 37:30 14Yusufu n'abagamba nti, “Kye kiikyo kye mbagambye nti muli bakessi; 15Ndayidde obulamu bwa Falaawo, mujja kugezebwa bwe muti: temugenda kuva wano okutuusa nga muganda wammwe oyo eyasigaddeyo azze wano. 16Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.” 17Awo bonna n'abasibira mu kkomera okumala ennaku ssatu. 18Ku lunaku olwokusatu Yusufu n'abagamba nti, “Ndi muntu atya Katonda, mukole bwe muti mubeere abalamu:#Leev 25:43, Nek 5:15 19oba nga muli ba mazima, omu ku mmwe asigale nga musibe mu kkomera mwe mubadde, naye mmwe abalala mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano gye muguze, baleme okufa enjala. 20Era mundeetere muto wammwe; ekyo kirikakasa nga bye mwogedde bya mazima, nammwe temulittibwa.” Ne bakola bwe batyo. 21Ne bagambagana nti, “Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku eno ky'evudde etutuukako.”#Lub 37:23-28, Yob 36:8,9 22Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti, “Ssaabagamba nti temukola kabi ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? Era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa.”#Lub 9:5; 37:21,22, 2 Byom 24:22, Zab 9:12, Luk 11:50,51 23Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omuvvuunuzi yabanga wakati we nabo. 24Yusufu n'ava we bali, n'akaaba amaziga; oluvannyuma bwe yaddayo gyebali n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe.
Baganda ba Yusufu baddayo e Kanani
25Awo Yusufu n'alagira okujjuza ensawo zaabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo. Ne babakolera bwe batyo.#Bar 12:17,20 26Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda. 27Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye, mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye nga eri ku mumwa gw'ensawo ye. 28N'agamba baganda be nti, “Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange.” Emitima gyabwe ne gibatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti, “Kino kiki Katonda ky'atukoze?” 29Bwe baatuuka ewa kitaabwe Yakobo, mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti, 30“Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza okuba abakessi b'ensi ye.#Lub 42:7,9 31Ne tumugamba nti, ‘Tetuli bakessi, tuli ba mazima; 32tuli ba luganda kkumi na babiri (12), kitaffe omu; omu ku ffe taliiwo, ate muto waffe asigadde ne kitaffe mu nsi ya Kanani.’ 33Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti, ‘Ku kino kwe nditegeerera nti muli baamazima; Omu ku mmwe asigale wano nange, naye abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, baleme okufa enjala.#Lub 42:15,19,20 34Mundeetere muto wammwe; olwo lwe n'ategeera nga temuli bakessi n'akatono, naye nga muli basajja ba mazima; bwe ntyo ndibaddiza muganda wammwe, nammwe munaasuubulanga mu nsi eno.’ ”#Lub 34:10 35Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli muntu n'asanga effeeza ye mu nsawo ye; bo ne kitaabwe, bwe baalaba buli omu effeeza ye ne batya.#Lub 42:27,37 36Yakobo kitaabwe n'abagamba nti, “Nze mummazeeko abaana bange; Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, ate era mwagala okunzigyako ne Benyamini; ebyo byonna binzitoowerera.” 37Lewubeeni n'agamba kitaawe nti, “Bwesirikomyawo Benyamini gy'oli, ottanga batabani bange bombi. Munkwase, ndimukomyawo gy'oli.”#Lub 46:9 38N'ayogera nti, “Omwana wange tajja kugenda nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka; akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera kulinzita nze omukadde.”#Lub 37:33,35; 42:4
Currently Selected:
Olubereberye 42: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.