YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 44

44
Ekikompe ekyabula
1Yusufu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti, “Jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye.#Lub 42:24 2Era teeka ekikompe kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, wamu n'effeeza ye.” Omuwanika n'akola nga Yusufu bw'amugambye. 3Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, nga bali n'endogoyi zaabwe. 4Bwe baali bakava mu kibuga naye nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti, “Situka ogoberere abasajja abo; bw'onoobatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki obulungi mu busasuddemu obubi? 5Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu, era ky'alaguza? Mukoze bubi nnyo.’ ” 6N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. 7Ne bamugamba nti, “Kiki eky'ogezezza mukama waffe ebigambo ebiriŋŋaanga ebyo? Kitalo, ffe abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo. 8Laba, effeeza gye twasanga mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli, okuva mu nsi ya Kanani; kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?#Lub 43:21 9Buli anaasangibwa ku baddu bo ng'ali nakyo, attibwe era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”#Lub 31:32 10N'ayogera nti, “Kale nno kaakano kibe nga bwe mugambye. Anaasangibwa ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe abalala temubeeko musango.” 11Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. 12Omuwanika wa Yusufu, n'ayaza, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto; ekikompe ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. 13Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, buli muntu n'ateeka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.#Lub 37:29,34 14Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu, ne bamusanga ng'akyaliyo; ne bavuunama mu maaso ge.#Lub 42:6 15Yusufu n'abagamba nti, “Kikolwa ki kino kye mukoze? Temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?” 16Yuda n'ayogera nti, “Tunaagamba tutya mukama wange? Tunaayogera tutya? Oba tunaawoza tutya? Katonda alabye obutali butuukirivu bw'abaddu bo; Kati tuli baddu ffe awamu n'oyo asangiddwa n'ekikompe.”#Lub 37:18; 44:9, Kubal 32:23 17Yusufu n'agamba nti, “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikompe ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala muddeyo mirembe eri kitammwe.”
Yuda Awolereza Benyamini
18Awo Yuda n'alyoka asemberera Yusufu n'ayogera nti, “Ayi mukama wange nkwegayiridde, nzikiriza nze omuddu wo njogereko naawe, tonsunguwalira, kubanga olinga Falaawo ddala.#Lub 41:40 19Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti, ‘Mulina kitammwe, oba muganda wammwe?’ 20Naffe ne tugamba mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana bannyina, era kitaawe amwagala.’ 21Naawe n'ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmukubeko amaaso.’#Lub 42:14,20 22Ne tugamba mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuleka kitaawe; kubanga bw'alimuleka, kitaawe alifa.’ 23Abaddu bo n'obagamba nti, ‘Muto wammwe bw'atalijja nammwe, temuliddayo kulaba ku maaso gange nate.’#Lub 43:3,5 24Awo bwe twatuuka eri kitaffe ne tumubuulira ebigambo byonna bye wayogera. 25Kitaffe n'ayogera nti, ‘Muddeyo nate, mutugulire akamere.’#Lub 43:2 26Naffe ne twogera nti, ‘Tetuyinza kuddayo, muto waffe bw'atagende naffe, kubanga tetugenda kuddayo kulaba ku maaso ga musajja, wabula nga muto waffe ali wamu naffe.’ 27Omuddu wo kitange n'atugamba nti, ‘Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri;#Lub 46:19 28omu n'anvaako, kye nnava njogera nti Mazima yataagulwataagulwa ensolo enkambwe, era siddangayo ku mulabako,#Lub 42:36,38 29era bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’ 30Kale kaakano bwe ndiddayo eri omuddu wo kitaffe ng'omulenzi oyo omuganzi tali wamu naffe, 31olwo abaddu bo ffe tuliba tuleetedde kitaffe okufa olw'okunakuwala. 32Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitaffe nga njogera nti, ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitaffe ennaku zonna.’#Lub 43:9 33Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be. 34Kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kabi akalituuka ku kitange.”

Currently Selected:

Olubereberye 44: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in