Matayo 6

6
Ebikolwa eby'obutuukirivu ssi by'abantu kukulaba
1 “Mwekuume obutakoleranga bikolwa byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu balyoke babalabe; kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera okuva eri Kitammwe ali mu ggulu.”
Okugabira abaavu kube mu kyama
2 Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, ng'abannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti baba bamaze okuweebwa empeera yaabwe. 3Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola,#Mat 25:37-40, Bar 12:8 4okugaba kwo kubeerenga kwa kyama; kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
Okusaba kw'omuntu kube mu kyama
(Luk 11:2-4)
5 Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi; kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe. # Mat 23:5,6 6Naye ggwe bw'osabanga, yingiranga mu kisenge kyo munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.#2 Bassek 4:33 7Nammwe bwe musabanga, temudiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola; kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.#Is 1:15 8Kale, temufaanananga nga bo, kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.#Mat 6:32 9Kale, musabenga bwe muti, nti, “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.#Luk 11:2-4, Yok 17:6 10Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.#Mat 7:21, Luk 22:42 11Otuwe leero emmere yaffe eya leero. 12Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatwewolako.#Mat 18:21-35 13Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole mu bibi. [Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.”]#1 Byom 29:11-13, Yok 17:11,15 14“Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. #Mak 11:25,26 15Naye bwe mutaasonyiwenga bantu byonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.”
Okusiiba kw'omuntu kubenga mu kyama
16 Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku; kubanga beeyonoona mu ndabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe. #Is 58:5-9 17Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso; 18abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
Obugagga mu ggulu
(Luk 12:33-34)
19 Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n'ennyenje n'obutalagge, n'ababbi kwe basimira ne babba, 20naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira, so gye batabbira.#Mat 19:21, Luk 12:33,34, Bak 3:1,2 21Kubanga ebintu byo gye bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera. 22“Ettabaaza y'omubiri lye liiso, eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala.#Luk 11:34-36 23Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa obunene!” #Mat 20:15
Musookenga okunoonya eby'obwakabaka obw'omu ggulu
(Luk 16:13; 12:22-31)
24 Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri; kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona. # Luk 16:9,13 25#Luk 12:22-31Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebusinga mmere, n'omubiri tegusinga byakwambala?#Baf 4:6, 1 Peet 5:7, 1 Tim 6:6, Beb 13:5 26Mulabe ennyonyi ez'omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo?#Mat 10:29-31 27Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n'akaseera akamu? 28Naye ekibeeraliikiriza ki eby'okwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye; 29naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.#1 Bassek 10 30Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? 31Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? Oba tulinywa ki? Oba tulyambala ki? 32Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.#Mat 6:8 33Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.#Bar 14:17, 1 Bassek 3:13,14, Zab 37:4,25 34Kale temweraliikiriranga bya jjo, kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala. #Kuv 16:19

Айни замон обунашуда:

Matayo 6: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy