Matayo 5

5
Obulamu bw'abantu abw'obwakabaka obw'omu ggulu
(5:1—7:29)
Abalina omukisa
(Luk 6:20-23)
1Awo Yesu bwe yalaba ebibiina by'abantu, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja w'ali; #Luk 6:20-26 2n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti:
3 “Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.” # Is 57:15
4 “Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.” # Zab 126:5, Is 61:3, Kub 7:17
5 “Balina omukisa abateefu, kubanga abo balisikira ensi.” # Zab 37:11
6 “Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu, kubanga abo balikkusibwa.”
7 “Balina omukisa ab'ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.” # Yak 2:13
8 “Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.” #Zab 24:4; 51:10; 73:1, 1 Yok 3:2,3
9 “Balina omukisa abakolerera emirembe, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.”
10 “Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. # 1 Peet 3:14 11Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayirizanga buli kigambo kibi, nga babalanga nze. #1 Peet 4:14 12Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga bwe batyo bwe baayigganyanga bannabbi abaasooka mmwe.” #Yak 5:10, Beb 11:33-38
Abw'obwakabaka bw'omu ggulu balina okuba munnyo n'omusana mu nsi
(Mak 9:50, Luk 14:34-35)
13 “Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Guba tegukyagasa nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu ne bagulinnyirira. #Mak 9:50, Luk 14:34,35 14Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kizimbibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. #Yok 8:12 15So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. #Mak 4:21 16Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.” #Bef 5:8,9, 1 Peet 2:12
Yesu agumizza eby'amateeka
17 “Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi; sajja kubidibya, wabula okubituukiriza. #Mat 3:15, Bar 3:31; 10:4 18Kubanga mazima mbagamba nti, eggulu n'ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak'omu Mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. #Luk 16:17; 21:33 19Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu; naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. #Yak 2:10, 1 Kol 15:9 20Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.”
Okwekuuma obusungu
(Luk 12:57-59)
21 “Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga; naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango.’ #Kuv 20:13; 21:12, Leev 24:17, Ma 17:8,9 22naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, aba azizza omusango; n'oyo anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, ate anaagambanga muganda nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena. #1 Yok 3:15 23Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'osinzira eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo ky'akwemulugunyiza, #Mak 11:25 24leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo. 25Tabagananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. #Mat 6:14,15; 18:35, Luk 12:58,59 26Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza okusasula n'eppeesa erisembayo.”
Obwenzi butandiikira mu mutima
27 “Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Toyendanga,’ # Kuv 20:14 28naye nange mbagamba mmwe nti buli muntu atunuulira omukazi n'amwegomba, mu mutima gwe ng'amaze okumwendako. #Yob 31:1, 1 Peet 2:14 29Singa eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.#Mat 18:8,9, Mak 9:43,47, 1 Kol 3:5 30Era singa omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, ogusuule wala; kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, okusinga omubiri gwo gwonna lwe gulisuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.”
Obwenzi bw'omufumbo
(Mat 19:9, Mak 10:11-12, Luk 16:18)
31 “Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba; # Mat 19:3-9, Ma 24:1 32naye nange mbagamba nti buli muntu anaagobanga mukazi we, wabula ng'amugobye lwa bwenzi, ng'amwenzezza, n'oyo anaawasanga gwe baagoba, ng'ayenze.” #Luk 16:18, 1 Kol 7:10,11
Okwogera amazima kusinga okulayira
33 “Era mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tolayiranga bya bulimba, naye otuukirizanga eri Mukama ebyo byolayidde;’ #Kuv 20:7, Leev 19:12, Kubal 30:2 34naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda;#Mat 23:16-22, Is 66:1, Bik 7:49 35newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.#Zab 48:2 36So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba luddugavu. 37Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo; naye ebisinga ebyo biva mu mubi.” #2 Kol 1:17, Yak 5:12
Ssi kirungi okuwoolera eggwanga
(Luk 6:29-30)
38 “Mwawulira bwe baagambibwa nti ‘Eriiso ligattibwenga liiso, n'erinnyo ligattibwenga linnyo,’ #Leev 24:20, Ma 19:21 39#Luk 6:27-36naye nange mbagamba mmwe nti Temuziyizanga mubi; naye omuntu bw'akukubanga ku luba olwa ddyo, omukyusizanga n'olwa kkono. #Yok 18:22,23, Leev 19:18 40Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibaawo kyo.#1 Kol 6:7 41Omuntu bw'akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri. 42Akusabanga omuwanga; omuntu bw'ayagalanga okumuwola, tomwegobangako.”
Abatuukirivu balina okwagala abalabe baabwe
(Luk 6:27-28,32-36)
43 “Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo;’ # Leev 19:18 44naye nange mbagamba mmwe nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya;#Kuv 23:4,5, Bar 12:14,20, Luk 23:34, Bik 7:60 45mulyoke mubeerenga abaana bakitammwe ali mu ggulu; kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, era atonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.#Bef 5:1 46Kubanga bwe munaayagalanga abo ababaagala, mulina mpeera ki? N'abawooza tebakola bwe batyo? 47Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, olwo kye mukoze okusinga abalala ki? N'ab'amawanga tebakola bwe batyo? 48Kale mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.” #Leev 19:2

Айни замон обунашуда:

Matayo 5: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy