Matayo 11

11
Okuwakanya Kristo kweyongera
(11:1—12:50)
Yokaana Omubatiza atuma ababaka
(Luk 7:18-35)
1Awo olwatuuka Yesu bwe yamaliriza okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.#Mat 7:28; 13:53; 19:1; 26:1
2Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera, Kristo by'akola, n'atuma abayigirizwa be,#Mat 14:3 3okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?”#Mal 3:1, Dan 9:26 4Yesu n'abaddamu nti, “Muddeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba; 5abazibye amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.#Is 35:5,6; 61:1 6Naye alina omukisa oyo yenna atalinneesittalako.”#Mat 13:57; 26:31 7Nabo bwe baagenda, Yesu n'atandika okwogera n'ebibiina ku Yokaana nti, “Kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? Olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?#Mat 3:1,5 8Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka. 9Naye kiki kye mwagenderera? Kulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.”#Luk 1:76 10“ Oyo ye yawandiikibwako nti,”#Mal 3:1, Mak 1:2, Yok 3:28
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go. ’ ”
“ ‘Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.’ ”
11 “‘Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza; naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye. # Mat 13:17 12Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'ababuwaguza babunyaga lwa maanyi.#Luk 16:16; 13:24, Yok 6:15 13Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baayogeranga ebya Katonda okutuusa ku Yokaana, ebifa ku bwakabaka. 14Era oba nga mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.’#Mal 4:5, Mat 17:10-13 15Alina amatu ag'okuwulira, awulire. 16Naye emirembe gino nnaagifaananya ki? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, 17nga bagamba nti, ‘Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.’#Nge 29:9 18Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti, ‘Aliko dayimooni.’#Mat 3:4 19Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti, ‘Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!’ Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.”#Mat 9:14,15
Ebibuga ebitalina kukkiriza
(Luk 10:13-15)
20Awo Yesu n'atandika okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amagero eby'amaanyi, kubanga tebyenenya n'agamba nti,#Luk 19:12-15 21“Zirikusanga ggwe Kolaziini! Zirikusanga ggwe Besusayida! Kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.#Yon 3:6 22Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe. 23Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? Olikka emagombe; kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano.#Mat 4:13; 8:5; 9:1, Is 14:13,15 24Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.”#Mat 10:15
Mujje gyendi muwummule
(Luk 10:21-22)
25 # Luk 10:21,22 Mu kiseera ekyo, Yesu yaddamu n'agamba nti, “Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakalabakalaba n'obibikkulira abaana abato;#1 Kol 1:26-29 26weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go. 27Ebintu byonna byankwasibwa Kitange; so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumumubikkulira.#Mat 28:18, Yok 3:35; 17:2, Baf 2:9 28Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.#Mat 12:20, Yer 31:25 29Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima, nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.#Yer 6:16 30Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.”#1 Yok 5:3

Айни замон обунашуда:

Matayo 11: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in