ENTANDIKWA 11
11
Omunaala gw'e Babeeli
1Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo bye bimu ebyogerwa. 2Abantu bwe baali nga basenguka okuva ebuvanjuba, ne basanga olusenyi mu nsi y'e Sinaari, ne basenga omwo. 3Ne bagambagana nti: “Tubumbe amatoffaali, tugookye nnyo gagume.” Awo ne baba n'amatoffaali, mu kifo ky'amayinja, ne bagasibisa obudongo, mu kifo ky'ennoni. 4Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.”
5Awo Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abantu bye bazimba. 6Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema. 7Kale tukke tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” 8Awo Mukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga. 9Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli,#11:9 Babeeli: Mu Lwebureeyi, erinnya eryo liva mu kigambo ekitegeeza “Okutabulatabula.” kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna.
Bazzukulu ba Seemu
(Laba ne 1 Byom 1:24-27)
10Bano be bazzukulu ba Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi, n'azaala Arupakusaadi, nga wayiseewo emyaka ebiri okuva ku mujjuzo gw'amazzi. 11Seemu n'awangaala emyaka emirala ebikumi bitaano, ng'amaze okuzaala Arupakusaadi, era n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12Arupakusaadi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu etaano, n'azaala Seela. 13Bwe yamala okuzaala Seela, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14Seela bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Eberi. 15Bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena, n'azaala Pelegi. 17Bwe yamala okuzaala Pelegi, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu asatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18Pelegi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Rewu. 19Bwe yamala okuzaala Rewu, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20Rewu bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri, n'azaala Serugi. 21Rewu bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu, n'azaala Nahori. 23Serugi bwe yamala okuzaala Nahori, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24Nahori bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda, n'azaala Teera. 25Nahori bwe yamala okuzaala Teera, n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Aburaamu ne Nahori ne Harani.
Bazzukulu ba Teera
27Bano be bazzukulu ba Teera, kitaawe wa Aburaamu ne Nahori ne Harani. Harani yazaala Looti. 28Harani yafiira mu kibuga ky'ewaabwe Wuuri eky'Abakaludaaya, nga kitaabwe akyali mulamu. 29Aburaamu n'awasa Saraayi, ne Nahori n'awasa Milika, muwala wa Harani era kitaawe wa Yisuka. 30Saraayi yali mugumba, nga talina mwana.
31Teera n'atwala mutabani we Aburaamu ne muzzukulu we Looti, mutabani wa Harani, ne mukaamwana we Saraayi, muka Aburaamu, n'ava nabo mu kibuga Wuuri eky'Abakaludaaya, bagende mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Harani, ne basenga eyo. 32Teera n'afiira eyo nga wa myaka ebikumi bibiri mu etaano.
Выбрано:
ENTANDIKWA 11: LBwD03
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.