Luk 7:7-9
Luk 7:7-9 BIBU1
Kyennavudde ndowooza nti nange nzennyini sisaanidde kujja gy'oli; wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona. Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole,’ ng'akikola.” Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'akyukira ekibiina ekyali kimugoberera, n'abagamba nti: “Ka mbabuulire, newandibadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kwenkana wano.”