Luk 7:21-22
Luk 7:21-22 BIBU1
Awo mu kaseera ako kennyini n'awonyezaamu bangi abaalina endwadde, obukosefu n'emyoyo emibi, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba, n'ayanukula n'abagamba nti: “Muddeeyo mubuulire Yowanna bye mulabye ne bye muwulidde: Bamuzibe baddamu okulaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abaavu babuulirwa amawulire amalungi.