N'akwata obuguwa n'abukolamu akaswanyu, bonna n'abagoba mu Kiggwa, era n'endiga n'ente; n'ensimbi z'abawaanyisa n'aziyiwa, n'emmeeza zaabwe n'azivuunika. N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano; ennyumba ya Kitange muleke kugifuula katale.”