1
Amas 3:6
BIBULIYA ENTUKUVU
Awo omukazi n'alaba ng'omuti gwali mulungi okulya, nga gusanyusa amaaso, era nga gwegombesa olw'amagezi ge guwa, n'atoola ku kibala kyagwo n'alya, n'awa ne bba gwe yali naye n'alya.
Сравнить
Изучить Amas 3:6
2
Amas 3:1
Omusota gwali mukupya okusinga ebiramu byonna eby'omu nsiko Omukama Katonda bye yali akoze. Gwagamba omukazi nti: “Ddala kituufu, Katonda yabagaana okulya ku buli muti ogw'omu nnimiro?”
Изучить Amas 3:1
3
Amas 3:15
“Nzija kubakyawaganya, ggwe n'omukazi, ezzadde lyo n'ezzadde lye; lyo lirikubetenta omutwe, ate ggwe olibojja ekisinziiro kyalyo.”
Изучить Amas 3:15
4
Amas 3:16
N'agamba omukazi nti: “Nzija kwongera nnyo okulumwa, abaana bo onoobazaalanga mu bulumi, ojja kuyaayaaniranga musajja wo, ate ye anaakufuganga.”
Изучить Amas 3:16
5
Amas 3:19
Onoolyanga emmere ng'evudde mu ntuuyo zo, okutuusa lw'olidda mu ttaka, kubanga mwe waggyibwa, kubanga oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
Изучить Amas 3:19
6
Amas 3:17
Ye omusajja n'amugamba nti: “Kubanga wawulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nakukomereza nti: ‘Togulyangako,’ “ettaka livumiriddwa olw'okubeera ggwe. Okuggyamu ky'olya onookuluusananga ennaku zonna ez'obulamu bwo.
Изучить Amas 3:17
7
Amas 3:11
N'amubuuza nti: “Ani akugambye nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakugaana okulyako?”
Изучить Amas 3:11
8
Amas 3:24
Katonda bwe yamala okugoba omusajja, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateekayo bakerubi n'ekitala eky'omuliro nga kyetala, okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Изучить Amas 3:24
9
Amas 3:20
Omusajja n'atuuma mukazi we Eva, kubanga ye yafuuka nnyina w'abalamu bonna.
Изучить Amas 3:20
Главная
Библия
Планы
Видео