Logo ya YouVersion
Elilingi ya Boluki

Yokaana 7

7
1 # Mak 9:30, Luk 9:51 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya: kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta. 2#Leev 23:34Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira. 3#Yok 2:12, Mat 12:46, Bik 1:14Awo baganda be ne bamugamba nti Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirimu gyo gy'okola. 4Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi. 5Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza. 6#Yok 2:4Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese. 7#Yok 15:18Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi. 8Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa. 9Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya.
10Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si lwatu, naye nga mu kyama. 11Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, ne bagamba nti Ali ludda wa? 12Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina. 13#Yok 9:22; 12:42; 19:38Naye tewaali yamwogerako lwatu kubanga baatya Abayudaaya.
14Awo mu mbaga wakati Yesu n'ayambuka ku yeekaalu, n'ayigiriza. 15#Mat 13:54, Luk 2:47Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako? 16#Yok 12:49Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma. 17Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange. 18#Yok 5:41,44Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye. 19#Yok 5:16,18,47, Bik 7:53, Bar 2:17-29Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita? 20#Mak 3:21, Yok 8:48,52; 10:20Ekibiina ne baddamu nti Oliko dayimooni: ani asala amagezi okukutta? 21#Yok 5:16Yesu n'addamu n'agamba nti Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna mwewuunya. 22#Lub 17:10-12, Leev 12:3Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu. 23#Yok 5:8Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti? 24#Yok 8:15Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.
25 # Yok 7:19 Awo abamu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti Gwe banoonya okutta si ye wuuno? 26Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo? 27#Yok 7:41Naye ono tumanyi gy'ava: naye Kristo bw'ajja, tewali ategeera gy'ava. 28Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe. 29#Mat 11:27Nze mummanyi; kubanga nava gy'ali, era ye yantuma. 30#Yok 8:20; 13:1, Luk 22:53Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka. 31#Yok 8:30; 10:42; 11:45; 12:42Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola? 32Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata. 33#Yok 13:33Awo Yesu n'agamba nti Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma. 34#Yok 8:21; 13:33; 17:24Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo. 35Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani? 36Kigambo ki ekyo ky'agamba nti Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo?
37 # Yok 4:10,14, Leev 23:36 Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. 38#Is 44:3; 55:1; 58:11, Ez 47:1,12, Zek 13:1; 14:8, Yo 2:28; 3:18Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe. 39#Yok 16:7, 2 Kol 3:17Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. 40#Yok 6:14, Ma 18:15Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti Mazima, ono ye nnabbi oli. 41#Yok 1:46Abalala ne bagamba nti Ono ye Kristo. Naye abalala ne bagamba nti Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya? 42#2 Sam 7:12, Mi 5:2, Mat 2:5,6; 22:42, Zab 89:3Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali? 43#Yok 9:16Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe. 44#Yok 7:30Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.
45 # Yok 7:32 Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti Ekibalobedde ki okumuleeta? 46#Mat 7:28,29Abambowa ne baddamu nti Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo. 47Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti Era nammwe abakyamizza? 48#Yok 12:42Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo? 49Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa. 50#Yok 3:1,2Nikoodemo (ye yajja gy'ali edda, ye munnaabwe) n'abagamba nti 51#Ma 1:16,17; 19:15Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze? 52#Yok 1:46; 7:41Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya. 53[Buli muntu n'addayo eka:

Currently Selected:

Yokaana 7: LUG68

Tya elembo

Share

Copy

None

Olingi kobomba makomi na yo wapi otye elembo na baapareyi na yo nyonso? Kota to mpe Komisa nkombo