Yokaana 19
19
1 #
Mat 27:2,11-30, Mak 15:1-19, Luk 23:1-25 Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo. 2Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu; 3#Yok 18:22ne bajja w'ali ne bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! ne bamukuba empi. 4Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye. 5Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engule y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo! 6Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera. Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye. 7#Yok 5:18; 10:33, Leev 24:16Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda. 8Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; 9n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu. 10Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera? 11#Yok 10:18, Bik 2:23Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga. 12#Bik 17:7Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali. 13Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe! 15#Yok 19:6Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali. 16#Mat 27:31-50, Mak 15:20-37, Luk 23:26-46Awo n'alyoka amubawa okukomererwa.
Awo ne batwala Yesu: 17n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa: 18ne bamukomererera awo, era n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, ne Yesu wakati. 19Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA. 20Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi. 21Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya. 22Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise.
23Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu. 24#Zab 22:18Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti
Baagabana ebyambalo byange,
Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange.
Awo basserikale ne bakola ebyo. 25Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene. 26#Yok 13:23Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo! 27Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
28 #
Yok 13:3; 18:4, Zab 22:15 Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta. 29#Zab 69:21Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe. 30Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
31 #
Ma 21:23
Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musalaba ku lunaku lwa sabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu,) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko. 32Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye: 33naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: 34naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. 35Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. 36#Kuv 12:46, Kubal 9:12, Zab 34:20Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba. 37#Zek 12:10, Kub 1:7Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.
38 #
Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Luk 23:50-55 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe. 39#Yok 3:2, Mat 2:11Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bw'abyo laateri nga kikumi. 40Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika. 41Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu. 42Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.
Currently Selected:
Yokaana 19: LUG68
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.