Yokaana 20

20
1 # Mat 28:1-10, Mak 16:1-11, Luk 24:1-12 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana. 2#Yok 13:23Awo n'adduka, n'ajja eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde. 3Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 4Ne badduka bombi wamu; n'omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana: 5n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n'atayingira. 6Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo, 7#Yok 11:44n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. 8Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza. 9#1 Kol 15:4, Bik 2:24-32Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
11Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana; 12n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe omulala mirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. 13Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N'abagamba nti Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde. 14Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka ennyuma, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu. 15Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo. 16Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza. 17#Beb 2:11,12, Bar 8:29Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe. 18Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.
19 # Mak 16:14-18, Luk 24:36-49 Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 20#1 Yok 1:1Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe. 21#Yok 17:18Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe. 22#Lub 2:7Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu: 23#Mat 16:19; 18:18be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.
24 # Yok 11:16; 14:5 Naye Tomasi omu ku kkumi n'ababiri, eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja. 25#Yok 19:34Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Naye n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.
26 # Yok 20:19 Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti Emirembe gibe mu mmwe. 27Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza. 28#Yok 1:1Tomasi n'addamu n'amugamba nti Ggwe Mukama wange, era Katonda wange. 29#1 Peet 1:8Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.
30Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino; 31#1 Yok 5:13, Bar 1:17naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye.

Currently Selected:

Yokaana 20: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in