Olubereberye 5
5
Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa
1 Luno lwe lulyo lwa Adamu.
Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. 2 Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”
3 Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. 4Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 5 Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.
6Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. 7Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 8Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.
9Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. 10Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 11Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.
12Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. 13Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.
15Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. 16Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 17Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.
18 Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. 19Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 20Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.
21Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. 22 Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 23Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24 Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.
Mesuseera ne Nuuwa
25Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. 26Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 27Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.
28Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi 29 n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” 30Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 31Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.
32Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
Attualmente Selezionati:
Olubereberye 5: EEEE
Evidenziazioni
Condividi
Copia
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.