1
YOWANNE 16:33
Luganda DC Bible 2003
Ebyo mbibabuulidde, mulyoke mube n'emirembe mu nze. Ku nsi mujja kubonaabona, naye mugume, nze mpangudde ensi.”
Bandingkan
Telusuri YOWANNE 16:33
2
YOWANNE 16:13
Naye Mwoyo amanyisa abantu amazima bw'alijja, anaabaluŋŋamyanga mu by'amazima byonna, kubanga taayogerenga ku bubwe, wabula anaayogeranga by'awulira, era anaababuuliranga ebigenda okujja.
Telusuri YOWANNE 16:13
3
YOWANNE 16:24
Okutuusa kati mubadde temusaba mu linnya lyange. Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
Telusuri YOWANNE 16:24
4
YOWANNE 16:7-8
Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira. Ye bw'alijja, alirumiriza abantu b'ensi nti bawubwa ku bikwata ku kibi, ne ku butuukirivu, ne ku kusala omusango
Telusuri YOWANNE 16:7-8
5
YOWANNE 16:22-23
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako. “Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange.
Telusuri YOWANNE 16:22-23
6
YOWANNE 16:20
Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu.
Telusuri YOWANNE 16:20
Beranda
Alkitab
Rencana
Video