ENTANDIKWA 32
32
Yakobo yeeteekateeka okusisinkana Esawu
1Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2Yakobo bwe yabalaba, n'agamba nti: “Lino lye ggye lya Katonda.” N'atuuma ekifo ekyo erinnya Mahanayimu.#32:2 Mahanayimu: Mu Lwebureeyi “Mahanaim,” ekitegeeza “Amagye abiri.”
3Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu eri Esawu muganda we, mu nsi ya Seyiri, mu kitundu eky'e Edomu. 4N'abalagira nti: “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti: ‘Nabeeranga ne Labani, era mbadde naye okutuusa kaakano. 5Era nnina ente n'endogoyi n'amagana g'endiga n'embuzi, n'abaddu n'abazaana. Era ntumye okukutegeeza mukama wange, olyoke onkwatirwe ekisa.’ ”
6Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti: “Twagenda eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana ng'ali n'abasajja ebikumi bina.” 7Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu magana g'endiga n'embuzi n'ente n'eŋŋamiya. 8N'agamba nti: “Esawu bw'anaatuukira ku kibinja ekimu n'akikuba, ekibinja ekinaasigalawo kinaawona.”
9Awo Yakobo n'agamba nti: “Ayi Katonda wa jjajjange Aburahamu, era Katonda wa kitange Yisaaka, ayi Mukama ggwe eyaŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, ndikuluŋŋamiza buli kintu,’ 10sisaanira n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yorudaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibinja bibiri. 11Nkwegayiridde, mponya muganda wange Esawu kubanga mmutya, sikulwa ng'ajja n'atutta ffenna, nga tataliza na bakazi wadde abaana. 12Naye wagamba nti: ‘Ndikuluŋŋamiza buli kantu, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutayinza kubalika olw'obungi.’ ”#Laba ne Nta 22:17
13Yakobo n'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku bye yalina awe Esawu muganda we ekirabo: 14embuzi enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, n'ennume amakumi abiri. 15Eŋŋamiya ezikamibwa amata amakumi asatu n'abaana baazo, ente enkazi amakumi ana, n'eza sseddume kkumi, endogoyi enkazi amakumi abiri, n'ennume kkumi. 16N'azikwasa abaddu be, buli ggana nga liri lyokka, n'abagamba nti: “Munkulemberemu, era mulekeewo ebbanga wakati w'eggana erimu n'eggana eddala.”
17N'alagira eyakulemberamu nti: “Muganda wange Esawu bw'anaakusisinkana n'akubuuza nti: ‘Oli w'ani, era ogenda wa? N'ensolo ezo ezikukulembeddemu z'ani?’ 18Oddamu nti: ‘Za muweereza wo Yakobo. Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ” 19Era n'alagira n'owookubiri, n'owookusatu, n'abalala bonna abaagoba amagana, n'abagamba nti: “Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamusisinkana. 20Munaagamba nti: ‘Ddala omuweereza wo Yakobo atuvaako mabega!’ ” Yakobo yagamba nti: “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, oboolyawo anannyaniriza.” 21Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
Yakobo amegganira e Penweli
22Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomoka Omugga Yabboki. 23N'abatwala, n'abasomosa omugga era n'asomosa ne byonna bye yalina. 24Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala.#Laba ne Hos 12:3-4 25Omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoona ku bbunwe, bbunwe wa Yakobo n'awogoka ng'ameggana naye. 26N'agamba Yakobo nti: “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'agamba nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.” 27Omusajja n'amubuuza nti: “Erinnya lyo gwe ani?” N'addamu nti: “Yakobo.” 28Omusajja n'agamba nti: “Tokyayitibwanga Yakobo, wabula YISIRAYELI,#32:28 Yisirayeli: Mu Lwebureeyi erinnya eryo “Israel” livuga ng'ekigambo ekitegeeza “ameggana ne Katonda” oba “Katonda ameggana.” kubanga omegganye ne Katonda era n'abantu, era owangudde.”#Laba ne Nta 35:10
29Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Naye oli n'addamu nti: “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'aweera Yakobo omukisa mu kifo ekyo.#Laba ne Balam 13:17-18
30Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penweli#32:30 Penweli: Mu Lwebureeyi “Penuel,” ekitegeeza “Amaaso ga Katonda.”, ng'agamba nti: “Ndabaganye ne Katonda maaso na maaso, ne nsigala nga ndi mulamu!” 31Enjuba n'emwakako, ng'ava e Penweli, ng'awenyera, olwa bbunwe we. 32N'okutuusa kati Abayisirayeli kyebava batalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoona Yakobo.
Արդեն Ընտրված.
ENTANDIKWA 32: LB03
Ընդգծել
Կիսվել
Պատճենել
Ցանկանու՞մ եք պահպանել ձեր նշումները ձեր բոլոր սարքերում: Գրանցվեք կամ մուտք գործեք
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.