Olubereberye 1
1
1 #
Yob 38:4-7, Is 42:5; 45:18, Yok 1:3, Bak 1:16, Beb 1:10; 11:3, Kub 4:11 Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. 2#Yer 4:23Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi. 3#2 Kol 4:6Katonda n'ayogera nti Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu. 4Katonda n'alaba ng'obutangaavu bulungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikiza. 5Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.
6 #
Yob 37:18, Zab 33:6, Yer 10:12 Katonda n'ayogera nti Wabeewo ebbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. 7Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali. 8Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri.
9 #
Yob 38:8,10,11, Zab 33:7; 95:5, Yer 5:22 Katonda n'ayogera nti Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo ekimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali. 10Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga birungi. 11#Zab 104:14Katonda n'ayogera nti Ensi emere ebimera, omuddo ogubala ensigo, omuti ogw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali. 12Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mu ngeri yaagwo: Katonda n'alaba nga birungi. 13Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu.
14Katonda n'ayogera nti Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro: bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka: 15bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi: bwe kityo bwe kyali. 16#Zab 136:7-9Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene: ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro; era n'emmunyeenye. 17Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, 18#Yer 31:35bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'ekizikiza: Katonda n'alaba nga birungi. 19Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna.
20Katonda n'ayogera nti Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ekibuuka kibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu. 21#Zab 104:14Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi. 22Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti Mweyongere mwale mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi. 23Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano.
24Katonda n'ayogera nti Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali. 25Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaayo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi. 26#Lub 3:22; 5:1; 9:6; 11:7, Zab 8:6-8, Is 6:8, Yak 3:7,9Katonda n'ayogera nti Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe; bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu n'ente n'ensi yonna na buli ekyewalula ku nsi. 27#Mal 2:14,15, Mat 19:4, Mak 10:6, 1 Kol 11:7, Bef 4:24, Bak 3:10Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusaja n'omukazi bwe yabatonda. 28#Lub 9:1,7, Leev 26:9, 1 Tim 4:3Katonda n'abawa omukisa: Katonda n'abagamba nti Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi. 29#Yob 36:31, Zab 104:14,15; 145:15,16Katonda n'ayogera nti Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu ekibala ky'omuti ogubala ensigo; eri mmwe gunaabanga mmere: 30#Zab 104:27,28; 147:9, Dan 10:4n'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali. 31#Zab 104:24, 1 Tim 4:4Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba, enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.
Trenutno odabrano:
Olubereberye 1: LUG68
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li svoje istaknute stihove spremiti na sve svoje uređaje? Prijavi se ili registriraj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.