Amas 8

8
1Awo Katonda n'ajjukira Nowa na buli kisolo eky'ettale n'ebisolo eby'awaka ebyali naye mu kyombo, Katonda n'aleeta empewo ku nsi amazzi ne gakendeera. 2Ensulo ez'eddubi n'ebiyiriro eby'eggulu ne biggalira, n'enkuba n'eziyizibwa okuva mu ggulu. 3Amazzi ne gaddirira, ne gagenda nga gakendeera. Ku nkomerero y'ennaku ekikumi mu ataano ne gatandika okukalira. 4Mu mwezi ogwomusanvu nga gwakamala ennaku kkumi na musanvu ekyombo ne kituula ku nsozi Ararati. 5Amazzi gaagendanga gakendeera okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi; ku mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olusooka olw'omwezi, entikko z'ensozi ne zirabika.
6Bwe waayitawo ennaku amakumi ana, Nowa n'aggulawo eddirisa lye yali akoze mu kyombo, 7n'asindika nnamuŋŋoona; yagiranga n'afuluma n'adda, okutuusa amazzi ku nsi lwe gaakalira. 8N'asindika n'ejjiba alabe oba amazzi gakendedde ku nsi. 9Naye ejjiba teryazuula kifo we lisobola kugwa, ne likomawo gy'ali mu kyombo kubanga amazzi gaali gakyali wonna ku nsi. N'alikunuukiriza, n'alikwata, n'aliyingiza gy'ali mu kyombo. 10N'alindirirayo ennaku endala musanvu n'addamu okusindika ejjiba, nga liva mu kyombo. 11Ne likomawo gy'ali akawungeezi, mu kamwa kaalyo nga mulimu akatabi akabisi aka oliva. Nowa bw'atyo n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi. 12Sso era n'alindirirako ennaku endala musanvu; n'asindika ejjiba, naye siryaddamu kudda gye yali.
13Bwe kityo, mu mwaka ogw'olukaaga mu ogumu, mu mwezi ogusooka, ku lunaku olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nowa n'aggulawo ekisaanikira ku kyombo, n'alaba nga ku nsi wonna wakalu.
14Mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu, ensi n'ekalira ddala.
15Katonda n'agamba Nowa nti: 16“Fuluma ekyombo ggwe ne mukazi wo ne batabani bo ne bakaabaana bo. 17Ebiramu byonna ebiri naawe ku buli kitonde: ebinyonyi, ebisolo, na buli kyewalula ku ttaka, bifulumye wamu naawe, bibune ku nsi bizaale, byale ku nsi.” 18Nowa n'afuluma ne batabani be, ne mukazi we ne bakaabaana be. 19Ebisolo byonna, n'ebyewalula, ebinyonyi byonna, n'ebitambula ku nsi, buli kimu mu kika kyakyo, ne bifuluma ekyombo.
20Nowa n'azimbira Omukama omwaliiro, n'addira ku buli kisolo kirongoofu, ne ku buli kinyonyi kirongoofu, n'atambira ekitambiro ekyokye ku mwaliiro. 21Omukama n'awunyirwa akawoowo akasanyusa. Omukama n'agamba mu mutima gwe nti: “Sikyaddayo n'akatono kuvumirira ttaka olw'okubeera omuntu, kubanga endowooza y'omutima gw'omuntu okuva mu buvubuka bwe yeewunzikira ku kibi. Awo nno sikyaddamu kuzikiriza buli kiramu kyonna, nga bwe nkoze.
22“Ensi ng'ekyaliwo,
okusiga n'okukungula,
empewo n'ebbugumu,
ekyeya n'obutiti,
emisana n'ekiro
tebiibulirengawo ddala.”
Endagaano ne Nowa

હાલમાં પસંદ કરેલ:

Amas 8: BIBU1

Highlight

શેર કરો

નકલ કરો

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in