Amas 18

18
1Omukama yalabikira Yiburayimu okumpi n'omuvule omunene ogwa Mamure bwe yali ng'atudde mu mulyango gwa weema ye mu ttuntu ly'olunaku. 2Bwe yayimusa amaaso, n'alaba abasajja basatu nga bamuyimiridde kumpi. Bwe yabalaba, n'addukanako okugenda okubasisinkana ng'ava eno ku weema ye, n'avunnama ku ttaka, 3n'agamba nti: “Mukama wange, obanga nsanze ekisa mu maaso go, omuweereza wo tomuyitako buyisi. 4Leka baleeteyo ku tuzzi, munaabeko ku bigere era muwummuleko mu muti. 5Era ka ndeeteyo ku kagaati, muddemu ku ndasi, olwo kale mweyongereyo, manyanga kyemuvudde mukyama ew'omuweereza wammwe.” Bo ne bagamba nti: “Kola nga bw'oyogedde.”
6Yiburayimu n'agenda bunnambiro eri Saara mu weema n'amugamba nti: “Yanguwa, goya seeya ssatu#18,6 Ze lita 22. ez'obuwunga bw'eŋŋano, ovumbike n'obugaati.” 7N'agenda mangu mu ggana n'aggyayo akayana akagonvu ennyama, akalungi, n'akawa omulenzi; n'omulenzi n'ayanguwa mangu okukateekateeka. 8Yiburayimu n'addira omuzigo n'amata n'akayana, ke yali afumbye, n'abibassa mu maaso, ye n'ayimirira kumpi awo ku bbali wansi w'omuti bo nga balya.
9 # 17,15-21. Ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saara aluwa?” N'ayanukula nti: “Ali mu weema.” 10N'amugamba nti: “Mazima ndidda gy'oli mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino. Olwo mukazi wo Saara aliba alina omwana wa bulenzi.” Saara yali awuliriza mu mulyango gwa weema eyali emabega wa Yiburayimu. 11Bombi Yiburayimu ne Saara baali bakadde nga bayise mu myaka, nga ne Saara ayise mu myaka egy'okuzaala. 12Saara n'aseka muli munda ng'agamba nti: “Nze aweddeyo nti: ate ne baze akaddiye, nkyaddayo okufuna essanyu?” 13Omukama n'agamba Yiburayimu nti: “Lwaki Saara asese ng'agamba nti: ‘Nze akaddiye ati ndizaala omwana?’ 14Ku Mukama waliwo ekitasoboka? Ndikomawo gy'oli mu budde nga buno bwennyini, Saara aliba alina omwana wa bulenzi.” 15Saara olw'okutya ne yeegaana nti: “Sinnaseka.” Oli n'amugamba nti: “Nedda, osese.”
Okwegayirira kwa Yiburayimu
16Abasajja ne basituka okugenda, amaaso ne bagoolekeza Sodoma, ne Yiburayimu n'agenda nabo okubawerekerako. 17Omukama ne yeebuuza muli munda nti: “Oba Yiburayimu mmukise kye ŋŋenda okukola? 18#12,3.Naye wuuno agenda kufuuka ggwanga ddene, ery'amaanyi, nga n'amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa mu ye. 19Anti namulonda alagire batabani be n'ennyumba ye erimuddirira, bakuume ekkubo ly'Omukama, bakole ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu, Omukama bw'atyo atuukirize eri Yiburayimu byonna bye yamusuubiza.” 20Awo Omukama n'agamba nti: “Okukuba emiranga okw'e Sodoma ne Gomorra nga kweyongedde, n'ekibi kye nga kigezze nnyo. 21Ka nserengeteyo, ndabe oba omulanga gwakyo oguntuuseeko ddala kye kugamba bwe kityo bwe kiri; oba nedda, nzija kumanya.”
22Abasajja ne bafunyamu okuva awo, ne boolekera Sodoma; kyokka ye Yiburayimu yasigala akyayimiridde mu maaso g'Omukama. 23Yiburayimu n'asembera n'abuuza nti: “Mu mazima omutuukirivu onoomusaanyaawo kumu n'omubi? 24Mu kibuga bwe munaabaamu amakumi ataano abatuufu, ddala onookisaanyaawo? Ekifo tookisonyiwe olw'abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? 25Kikafuuwe ggwe ekyo okukikola: okutta omutuukirivu wamu n'omubi; oyise kimu omutuukirivu n'omubi? Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutagoba bwenkanya? Kikafuuwe!” 26Omukama n'addamu nti: “E Sodoma mu kibuga bwe nnaasangamu amakumi ataano abatuukirivu, olw'okubeera abo, ekifo kyonna nzija kukitaliza.”
27Yiburayimu n'ayanukula n'agamba nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange newandibadde nga ndi nfuufu, ndi vvu. 28Kitya, bw'onoosanga nga ku makumi ataano kubuzeeko bataano abatuukirivu? Ekibuga onookizikiriza kubanga abataano babuzeeko?” N'agamba nti: “Bwe nnaasangayo amakumi ana mu abataano sijja kuzikiriza.” 29Yiburayimu n'addamu okumusaba nti: “Oba oli awo eneesangibwayo makumi ana?” N'agamba nti: “Olw'okubeera amakumi ana ago, sijja kuzikiriza.”
30Yiburayimu n'ayongera nti: “Nkwegayiridde Mukama wange tonsunguwalira bwe nnyongera okusaba. Kitya nga wasangiddwayo makumi asatu gokka?” N'ayanukula nti: “Bwe wanaasangibwayo amakumi asatu gokka, sijja kukolawo kantu.” 31Yiburayimu n'addamu nate nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange. Bwe wanaasangibwayo amakumi abiri gokka?” N'amuddamu nti: “Olw'okubeera amakumi abiri, sijja kuzikiriza.” 32Yiburayimu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Mukama wange tonsunguwalira bwe nnaayongerayo kiryose omulundi omulala gumu. Bwe banaasangibwayo ekkumi lyokka?” N'agamba nti: “Olw'okubeera ekkumi eryo, sijja kuzikiriza.”
33Omukama bwe yamala okwogera ne Yiburayimu, n'agenda; ne Yiburayimu n'addayo ewaabwe.
Okuzikirizibwa kwa Sodoma

હાલમાં પસંદ કરેલ:

Amas 18: BIBU1

Highlight

શેર કરો

નકલ કરો

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in