Amas 16
16
1Sarayi mukazi wa Aburaamu yali tamuzaalidde baana, naye yalina omuzaana we Omumisiri erinnya lye Agari. 2Sarayi n'agamba bba nti: “Wuuno Omukama annyimye okuzaala; genda eri omuzaana wange, oboolyawo mu oyo mwe nnaafunira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Sarayi kye yali amusabye. 3Sarayi yaddira Agari Omumisiri, omuzaana we, n'amuwa bba abeere mukazi we. Waali waakayita emyaka kkumi bukya Aburaamu asenga mu Kanaani. 4Aburaamu n'agenda gy'ali, Agari n'afuna olubuto. Bwe yamanya ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we. 5Sarayi ne yeemulugunyiza Aburaamu nti: “Nvumibwa lwa kubeera ggwe; nze nassa omuzaana wange mu mikono gyo; kati wuuli alabye ali lubuto, annyooma. Omukama y'aba atusalirawo.” 6Aburaamu n'amwanukula nti: “Anti muzaana wo, ali mu buyinza bwo; mukole nga bw'olaba.” Sarayi n'atulugunya Agari, Agari n'amudduka.
7Malayika w'Omukama n'asanga Agari okumpi n'oluzzi mu ddungu, ku luzzi oluli ku kkubo eriraga e Suru, 8n'amubuuza nti: “Agari, omuzaana wa Sarayi, ova wa? Ate ogenda wa?” Ye n'ayanukula nti: “Nziruka Sarayi mugole wange.” 9Malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Ddayo ewa mugole wo, omugondere.” 10Era Malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale nnyo, nga terikyabalika olw'obungi bwalyo.” 11Era malayika w'Omukama n'amugamba nti:
“Kakaano oli lubuto;
ojja kuzaala omwana mulenzi;
ojja kumutuuma Yisimayeli,
kubanga Omukama awulidde ennaku yo.
12Ono aliba musajja ndogoyi ya ttale;
alirwanyisa buli omu,
na bonna balimulwanyisa;
obulamu bwe wa kulumbagananga baganda be bonna.”
13Agari n'atuuma Omukama eyali ayogera naye: 'Oli-Katonda-Andaba', kubanga yagamba nti: “Kituufu, wano ndabiddewo omugongo gw'oyo andaba.” 14Oluzzi olwo kyeruva luyitibwa Beeri Lakayiroyi.#16,14 Beeri-Lakayiroyi kitegeeza Oluzzi lw'Omukama andaba. Luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15Agari yazaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'atuuma mutabani we Agari gwe yamuzaalira Yisimayeli. 16Aburaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agari okumuzaalira Yisimayeli.
Endagaano n'okutayirirwa
હાલમાં પસંદ કરેલ:
Amas 16: BIBU1
Highlight
શેર કરો
નકલ કરો
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.