Amas 12
12
1Katonda n'agamba Aburaamu nti: “Leka ensi yo, eŋŋanda zo n'ab'ennyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga. 2#15,5; 17,4-5; 18,18; 22,17; 28,14; 32,11; 46,3.Ndikukolamu eggwanga eddene era ndikuwa omukisa, ndyatiikiriza erinnya lyo, naawe olibeeranga mukisa.
3 #
18,18; 22,17-18; 26,4; 28,14; Gal 3,8. “Abakuwa omukisa ndibawa omukisa,
abakuvumirira ndibavumirira;
ate mu ggwe amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa.”
4Awo Aburaamu n'avaayo ng'Omukama bwe yali amulagidde, ne Loti n'agenda naye. Aburaamu yali wa myaka nsanvu mu etaano we yaviira mu Karani. 5N'atwala mukazi we Sarayi ne Loti mutabani wa muganda we n'ebintu byabwe byonna bye baali bafunye e Karani, ne basitula bagende mu nsi y'e Kanaani, ne batuuka mu nsi y'e Kanaani.
6 #
33,18-20. Aburaamu n'ayita mu nsi okutuuka mu kifo ky'e Sekemu, ku muvule omunene ogw'e More. Olwo Abakanaani be baalinga mu nsi. 7#13,15; 15,18; 17,8; 26,3; 24,7; 28,4.13; 35,12; 48,4; Gal 3,16.Omukama n'alabikira Aburaamu n'amugamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” N'azimbira eyo Omukama eyamulabikira omwaliiro. 8N'ava eyo n'ayolekera ensozi n'agenda ebugwanjuba wa Beteli n'asimba eyo weema ye, Beteli ng'amuli bugwanjuba ate Ayi buvanjuba; era eyo n'azimbirayo Omukama omwaliiro, n'akoowoola erinnya ly'Omukama. 9Aburaamu n'asitula, n'agenda ng'atambula ng'ayolekedde Negevu.
Aburaamu akkirira e Misiri
10 #
20,1-18; 26,7-11. Olwatuuka, enjala n'egwa mu nsi. Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, abeere eyo, kubanga enjala yali eyinze mu nsi. 11Yali anaatera okuyingira mu Misiri, n'agamba Sarayi mukazi we nti: “Mmanyi ng'oli mukazi mulungi mu ndabika; 12Abamisiri bwe banaakulaba bajja kugamba nti: ‘Ono mukazi we.’ Olwo nze bajja kunzita ggwe bakulekewo. 13Kale nno, nkwegayiridde, ogamba nti oli mwannyinaze. Nze biŋŋendere bulungi olw'okubeera ggwe, obulamu bwange buwone olw'okubeera ggwe.” 14Aburaamu bwe yatuuka mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. 15Abaami ba Faraawo bwe baalaba omukazi, ne bamumutendera; omukazi n'atwalibwa mu nnyumba ya Faraawo. 16Aburaamu n'ayisibwa bulungi olw'okubeera ye; n'afuna endiga, ente, abaddu n'abazaana, endogoyi ensajja n'enkazi, n'eŋŋamiya. 17Naye Omukama n'abonereza Faraawo n'ennyumba ye n'ebibonerezo eby'amaanyi olw'okubeera Sarayi muka Aburaamu. 18Faraawo n'ayita Aburaamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19Lwaki waŋŋamba nti: ‘Ono mwannyinaze?’ Nze namutwala ne mmufuula mukazi wange. Kale nno, mukazi wo wuuyo: mutwale, ogende.” 20Faraawo n'alagira basajja be, ne bamuwereekereza, ko ne mukyala we n'ebibye byonna bye yalina.
Aburaamu ne Loti baawukana
હાલમાં પસંદ કરેલ:
Amas 12: BIBU1
Highlight
શેર કરો
નકલ કરો
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.