1
Olubereberye 9:12-13
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
Comparer
Explorer Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
Explorer Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
Explorer Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
Explorer Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
Explorer Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
Explorer Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Explorer Olubereberye 9:7
Accueil
Bible
Plans
Vidéos