1
Olubereberye 17:1
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, MUKAMA n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
Comparer
Explorer Olubereberye 17:1
2
Olubereberye 17:5
Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
Explorer Olubereberye 17:5
3
Olubereberye 17:7
Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe.
Explorer Olubereberye 17:7
4
Olubereberye 17:4
“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
Explorer Olubereberye 17:4
5
Olubereberye 17:19
Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
Explorer Olubereberye 17:19
6
Olubereberye 17:8
Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”
Explorer Olubereberye 17:8
7
Olubereberye 17:17
Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
Explorer Olubereberye 17:17
8
Olubereberye 17:15
Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
Explorer Olubereberye 17:15
9
Olubereberye 17:11
Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
Explorer Olubereberye 17:11
10
Olubereberye 17:21
Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
Explorer Olubereberye 17:21
11
Olubereberye 17:12-13
Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
Explorer Olubereberye 17:12-13
Accueil
Bible
Plans
Vidéos