1
Amas 24:12
BIBULIYA ENTUKUVU
Ne yeegayirira nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, nkwegayiridde, mpa mbeere n'omukisa olwa leero, girira ekisa mukama wange Yiburayimu.
Vertaa
Tutki Amas 24:12
2
Amas 24:14
Omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo nnyweko,’ amala ayanukula nti: ‘Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera zinywe,’ abeere oyo gwe wategekera omuweereza wo Yizaake. Ku ekyo kwe nnaategeerera nti mukama wange omugiridde ekisa.”
Tutki Amas 24:14
3
Amas 24:67
Yizaake n'ayingiza Rebekka mu weema ya Saara nnyina, n'amuwasa, n'afuuka mukazi we; n'amwagala; bw'atyo Yizaake n'akubagizibwa olw'okufiirwa nnyina.
Tutki Amas 24:67
4
Amas 24:60
ne baagaliza Rebekka omukisa nga bagamba nti: “Mwannyinaffe, weeyongere n'okutuuka ku nkumi n'amakumi g'enkumi. Ezzadde lyo lyezze ebibuga by'abalabe baalyo.”
Tutki Amas 24:60
5
Amas 24:3-4
nkulayize Omukama Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nti toofunire mutabani wange mukazi mu bawala Abakanaani mwe ndi, wabula nti oligenda mu nsi yange, ne mu ŋŋanda zange, eyo gy'olifunira mutabani wange Yizaake omukazi.”
Tutki Amas 24:3-4
Koti
Raamattu
Suunnitelmat
Videot