Amas 37

37
1Ye Yakobo yabeeranga mu nsi Kanaani kitaawe mwe yali asenze.
VI. EKIFAAYO KYA YOZEFU
Ebirooto bya Yozefu
2Kino kye kifaayo kya Yakobo. Yozefu bwe yali akyali mulenzi muto, ng'aweza emyaka kkumi na musanvu, yali alunda amagana wamu ne baganda be batabani ba Biluwa ne Zilupa bakazi ba kitaawe, n'aloopa baganda be eri kitaabwe.
3Yakobo yayagalanga Yozefu okusinga abaana be bonna, kubanga yali mwana we eyamuzaalirwa mu bukadde, n'amutungira ekkanzu ey'amajjolobera.#37,3 Oba: ekkanzu ey'emikono emiwanvu. 4Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga batabani be bonna, ne bamukyawa nga tebakyasobola kwogera naye mu ddembe.
5Olumu Yozefu yaloota ekirooto, bwe yakinyumizaako baganda be, ne bamukyawa okusingawo. 6Yabagamba nti: “Muwulire ekirooto kyange kye naloose: 7Twabadde tusiba emiganda gy'eŋŋano mu nnimiro, ogwange amangu ago ne gusituka ne gwesimba, egyammwe emiganda ne gigwetooloola ne giguvunnamira.” 8#Et 25,5; Ruus 1,11.13; Mat 22,24.Baganda be ne baanukula nti: “Ggwe oliba kabaka waffe? Ggwe olitufuga?” Ne bongera okumukyawa olw'ebirooto n'ebigambo bye. 9Yalootayo n'ekirooto ekirala n'akinyumiza baganda be nti: “Mu kirooto nalabye enjuba, omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binsinza.” 10Bwe yakinyumiza kitaawe ne baganda be, kitaawe n'amukomako n'agamba nti: “Ekirooto kino kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulikuvunnamira ku ttaka?” 11Olw'ekyo baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye ye kitaawe ekigambo ekyo n'akikuuma mu birowoozo.
Yozefu atundibwa
12Olumu baganda be baagenda okulunda amagana ga kitaabwe okumpi n'e Sekemu, 13Yisirayeli n'agamba Yozefu nti: “Baganda bo balunda endiga kumpi n'e Sekemu, jjangu, ka nkutume gye bali.” Ye n'ayanukula nti: “Neetegese.” 14N'amugamba nti: “Genda, olabe baganda bo nga bwe bali n'amagana nga bwe gali, ate okomewo ombuulire ebifaayo.” N'amutuma ng'asinziira mu kiwonvu ky'e Keburoni; Yakobo n'agenda e Sekemu.
15Omusajja n'amusanga ng'atangatanga ku ttale, n'amubuuza nti: “Onoonya ki?” 16Ye n'ayanukula nti: “Nnoonya baganda bange; nnyamba ombuulire gye balundira endiga.” 17Omusajja n'amugamba nti: “Wano baavuddewo; nawulidde bagamba nti: ‘Tugende e Dotani.’ ” Yozefu n'awondera baganda be, n'abasanga e Dotani. 18Bwe yali akyaliko wala ne bamulengera; yali tannabatuuka ne basala olukwe bamutte. 19Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja. 20Mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe yamulya.’ Kale tuliraba ekiriva mu birooto bye.”
21Rubeni bwe yakiwulira, n'ayagala okumuwonya mu mikono gyabwe. 22Rubeni n'agamba nti: “Tuleme kumutta. Muleme kuyiwa musaayi; mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumussaako mukono gwammwe.” Yali ayagala kumuggya mu mikono gyabwe amuddize kitaawe. 23Yozefu olwali okutuuka, baganda be ne bamwambula ekkanzu ye, ekkanzu ey'amajjolobera gye yali ayambadde, 24ne bamusuula mu kinnya; kyali kikalu nga temuli mazzi.
25Bwe baali batudde balya emmere, bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky'abasuubuzi Abayisimayeli nga bava e Gileyaadi, eŋŋamiya zaabwe nga zeetisse ebirungo, amasanda ag'eddagala n'obubaani obwa mirra nga zibitwala mu Misiri. 26Yuda n'agamba baganda be nti: “Bwe tunatta muganda waffe ne tukweka omusaayi gwe kinaatugasa ki? 27Mugire tumuguze Abayisimayeli mu kifo ky'okumutta, anti muganda waffe, mubiri gwaffe, musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
28Abasuubuzi Abamidiyaani baali bayitawo, ne basikayo Yozefu mu kinnya, ne bamuguza Abayisimayeli ebitundu bya ffeeza amakumi abiri.#37,28 Ze guraamu 200 eza ffeeza. Bo ne bamutwala mu Misiri. 29Rubeni agenda okudda ku kinnya, yasanga Yozefu taliimu, 30n'ayuza ebyambalo bye, n'agenda eri baganda be n'abagamba nti: “Omwana taliimu, nze nnadda wa?”
31Ne batta embuzi ennume, ne baddira ekkanzu ye ne baginnyika mu musaayi gwayo; 32ne batwala ekkanzu ey'amajjolobera eri kitaabwe, ne bagamba nti: “Tusanze kino; laba oba ye kkanzu ya mutabani wo, oba nedda.” 33Kitaawe n'agitegeera, n'agamba nti: “Kkanzu ya mwana wange. Ensolo enkambwe yamulya, ekisolo kyamutaagula.” 34N'ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akaabira omwana we. 35Batabani be ne bawala be bonna ne bajja bakubagize kitaabwe; n'agaana okukubagizibwa; n'agamba nti: “Nedda! Ndiserengeta mu magombe eri omwana wange nga ndira.” Kitaawe n'amukaabira.
36Bo Abamidiyaani Yozefu ne bamutunda mu Misiri, ne bamuguza Potifari omukungu wa Faraawo, omukulu w'abakuumi be.
Yuda ne Tamari

انتخاب شده:

Amas 37: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید