Amas 35

35
1 # 28,10-22. Katonda yagamba Yakobo nti: “Situka, yambuka e Beteli, osenge eyo, Katonda eyakulabikira lwe wali odduka Ezawu muganda wo muzimbireyo omwaliiro.”
2Yakobo, n'ayita ennyumba ye yonna, n'abagamba nti: “Mweggyeko balubaale abagwira be mulina, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe. 3Tusituke twambuke e Beteli, nzimbireyo omwaliiro Katonda eyampulira ku lunaku lw'obuyinike bwange, ankuumye mu ŋŋendo zange ze ntambudde.” 4Ne bawa Yakobo balubaale bonna abagwira be baali balina, n'empeta ez'oku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuvule oguli okumpi n'e Sekemu. 5Bwe baasitula okugenda entiisa ya Katonda n'ekwata ebibuga byonna ebyetooloddewo; ne wataba aguma kuwondera batabani ba Yakobo.
6 # 28,19. Yakobo, n'abantu bonna be yali nabo, n'atuuka e Luzi mu Kanaani, kwe kugamba e Beteli. 7N'azimbayo omwaliiro, ekifo ekyo n'akituuma Eli-Beteli, kubanga Katonda gye yamulabikira lwe yali adduka muganda we. 8Mu budde obwo Debora omujjanjabi wa Rebekka n'afa, n'aziikibwa wansi w'omuvule mu maserengeta ga Beteli; ekifo ekyo Yakobo n'akituuma Alloni-Bakuti.#35,8 Alloni Bakuti kitegeeza Omuti ogw'Amaziga oba Omuvule ogw'Amaziga.
9Katonda n'alabikira Yakobo omulundi omulala, ng'amaze okukomawo ng'ava e Paddani-Aramu, n'amuwa omukisa, 10#32,28-29.n'amugamba nti: “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, wabula Yisirayeli lye liriba erinnya lyo; bw'atyo n'amutuuma Yisirayeli.” 11#17,1.4-8.N'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza wa buli kantu. Zaala, oyale; amawanga n'amawanga galisibuka mu ggwe, bakabaka baliva mu ggwe. 12N'ensi gye nawa Yiburayimu ne Yizaake ndigikuwa; n'ezzadde lyo eririkuddirira ndiriwa ensi eno.” 13Katonda n'ayambuka waggulu okuva w'ali mu kifo we yali ayogeredde naye.
14 # 28,19. Ye n'asimba empagi y'ejjinja mu kifo Katonda we yali ayogeredde naye, n'aliyiwako ku mutwe ekitone eky'okuyiwa, n'afukako n'omuzigo. 15Ekifo ekyo, Katonda we yali ayogeredde naye, n'akituuma Beteli.#35,15 Beteli kitegeeza Ennyumba ya Katonda; laba ne ku 28,19.
Okuzaalibwa kwa Benyamiini; okufa kwa Rakeli
16Ne bava e Beteli. Waali wakyabulayo ebbanga okutuuka e Efurati, Rakeli n'atuuka okuzaala, ng'alumwa nnyo. 17Yakabirirwa ng'azaala, naye omuzaalisa n'amugamba nti: “Guma, kubanga ojja kufuna era omwana ow'obulenzi.” 18Ng'assa omukka omuvannyuma, kubanga yali afa, omwana we n'amutuuma Beni-Oni,#35,18 Beni-Oni kitegeeza Mutabani ow'Obulumi bwange. naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini.#35,18 Benyamiini kwe kugamba nti Mutabani ow'Omukono gwange ogwa Ddyo. 19Rakeli n'afa bw'atyo, n'aziikibwa ku kkubo erigenda e Efurati, ye Beteleemu. 20Yakobo n'asimba empagi ku ntaana ye; ekyo kye kijjukizo ky'amalaalo ga Rakeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Ekivve kya Rubeni
21Yisirayeli n'ava eyo, n'asimba weema emitala wa Migudali-Ederi. 22#49,3-4.Yali akyali eyo, Rubeni n'agenda ne yeebaka ne Biluwa omu ku bakazi ba kitaawe; Yisirayeli n'akimanyako.
Batabani ba Yakobo
Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri. 23#29,31–30,24.Batabani ba Leya: Rubeni omuggulanda wa Yakobo, ne Simewoni, Leevi, Yuda, Yissakari ne Zebuluni. 24Batabani ba Rakeli: Yozefu ne Benyamiini. 25Batabani ba Biluwa omuzaana wa Rakeli: Daani ne Nafutali. 26Batabani ba Zilupa omuzaana wa Leya: Gaadi ne Aseeri. Beebo batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Paddani-Aramu.
Okufa kwa Yizaake
27 # 13,18. Yakobo n'atuuka eka ewa kitaawe Yizaake e Mamure, okumpi ne Kiriyati-Aruba, oba Keburoni; Yiburayimu ne Yizaake gye baabeeranga. 28Yizaake yawangaala emyaka kikumi mu kinaana; 29n'assa omukka omuvannyuma, n'afa, n'agattibwa ku bantu be. Yafa mukadde, agundidde mu myaka. Ezawu ne Yakobo batabani be ne bamuziika.
Amaka ga Ezawu n'ezzadde lye

انتخاب شده:

Amas 35: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید