ENTANDIKWA 4
4
Kayini ne Abeeli
1Awo Adamu ne yeegatta ne Haawa mukazi we, Haawa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'agamba nti: “Mukama annyambye ne nzaala omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya Kayini.#4:1 Kayini: Mu Lwebureeyi, erinnya lino livuga ng'ekigambo ekiva mu “Qanah,” ekitegeeza “Okufuna.”
2Oluvannyuma n'azzaako omwana omulala ow'obulenzi, Abeeli. Abeeli oyo n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi. 3Bwe waayitawo ekiseera, Kayini n'aleeta ku bibala bye yalima, okubiwaayo eri Katonda. 4Abeeli naye n'aleeta ku ndiga ze, ezaasookanga okuzaalibwa, n'azitta, n'awaayo ebitundu ebisinga obusava. Mukama n'asiima Abeeli ne ky'awaddeyo,#Laba ne Beb 11:4 5naye n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, era n'atunula bubi. 6Mukama n'agamba Kayini nti: “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi? 7Singa okola ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye bw'okola ekibi, ekibi kibeera ku luggi lwo. Kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”
8Kayini n'agamba Abeeli muganda we nti: “Tugende mu nnimiro.”#4:8 Tugende mu nnimiro: Ebiwandiiko ebimu eby'edda birimu ebigambo bino: “Tugende mu nnimiro.” Mu ky'Olwebureeyi tebiriimu, wabula mulimu nti: “Kayini n'ayogera ne Abeeli muganda we.” Bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini ne yeefuulira muganda we, n'amutta.#Laba ne Mat 23:35; Luk 11:51; 1 Yow 3:12
9Mukama n'abuuza Kayini nti: “Muganda wo Abeeli aluwa?” Kayini n'addamu nti: “Nze nkuuma muganda wange?”
10Mukama n'agamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.#Laba ne Beb 12:24 11Kale kaakano okolimiddwa ku ttaka eryasamye, ne limira omusaayi gwa muganda wo gw'osse. 12Okuva kati, bw'onoolimanga ettaka, teriikubalizenga bibala mu bugimu bwalyo. Onoobanga mmomboze era mubungeese mu nsi.”
13Kayini n'agamba Mukama nti: “Ekibonerezo ky'ompadde, kisukkiridde ku kye nnyinza okugumira. 14Ettaka olinzigyeko, era ongobye mu maaso go, nfuuse mmomboze era mubungeese mu nsi, era buli andaba, alinzita bussi!”
15Mukama n'amugamba nti: “Nedda. Buli alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Awo Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli amulaba aleme okumutta. 16Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'abeera mu nsi eyitibwa “Nodi,”#4:16 Nodi: Mu Lwebureeyi “Nodi,” ekitegeeza “Okubungeeta.” mu buvanjuba bwa Edeni.
Bazzukulu ba Kayini
17Awo Kayini ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya ly'omwana we Enoka.
18Enoka n'azaala Yiradi, Yiradi n'azaala Mehuyayeli, Mehuyayeli n'azaala Metusayeli, Metusayeli n'azaala Lameka. 19Lameka n'awasa abakazi babiri, omu ye Ada, omulala ye Ziila. 20Ada n'azaala Yabali, jjajja w'abalunzi abasula mu weema. 21Muganda we ye Yubali, jjajja w'abo bonna abakuba ennanga, n'abafuuwa endere. 22Ziila n'azaala Tubalu Kayini, omuweesi w'ebikozesebwa byonna eby'ekikomo n'eby'ekyuma. Mwannyina Tubalu Kayini, ye Naama.
23Lameka n'agamba bakazi be nti:
“Bakazi bange mwenna Ada ne Ziila,
muwulire kye ŋŋamba.
Natta omusajja eyanfumita,
era omuvubuka eyankuba.
24Oba nga Kayini aliwoolerwa eggwanga
emirundi musanvu,
Lameka aliwoolerwa
emirundi nsanvu mu musanvu.”
Seeti ne Enosi
25Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate, mukazi we n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seeti, ng'agamba nti: “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeli, Kayini gwe yatta.” 26Seeti#4:26 Seeti: Mu Lwebureeyi “Seth,” livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Ampadde.” naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Enosi. Mu biro ebyo, abantu we baasookera okusinzanga Mukama.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 4: LBwD03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.