ENTANDIKWA 5
5
Bazzukulu ba Adamu
(Laba ne 1 Byom 1:1-4)
1Luno lwe lukalala lw'abazzukulu ba Adamu. Katonda bwe yatonda abantu, yabatonda ne bamufaanana.#Laba ne Nta 1:27-28 2Yatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya nti “Bantu.”#Laba ne Mat 19:4; Mak 10:6 3Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi, amufaananira ddala, n'amutuuma erinnya Seeti. 4Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana ng'amaze okuzaala Seeti. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 5n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu.
6Seeti bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano, n'azaala Enosi. 7Seeti n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 8n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri. 9Enosi bwe yaweza emyaka kyenda, n'azaala Kenani. 10Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 11n'afa nga wa myaka lwenda mu etaano.
12Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Mahalaleeli. 13Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 14n'afa nga wa myaka lwenda mu kkumi.
15Mahalaleeli bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yaredi, 16Mahalaleeli n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 17n'afiira ku myaka lunaana mu kyenda mu etaano.
18Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka. 19Yaredi n'awangaala emyaka emirala lunaana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 20n'afa ng'aweza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri.
21Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Metuseela. 22Enoka n'awangaala emyaka emirala ebikumi bisatu, ng'atambulira wamu ne Katonda. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. 23Yaweza emyaka egy'obukulu ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda, oluvannyuma n'atalabikako nate, kubanga Katonda yamutwala.#Laba ne Beb 11:5; Yuda 14
25Metuseela bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n'azaala Lameka. 26Metuseela n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 27n'afiira ku myaka lwenda mu nkaaga mu mwenda.
28Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi. 29N'agamba nti: “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe, mu nsi Mukama gye yakolimira.” N'amutuuma erinnya Noowa.#5:29 Noowa: Mu Lwebureeyi “Noah,” livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Okuweerako.” 30Lameka yawangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, 31n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsavu mu musanvu.
32Noowa bwe yali ng'aweza emyaka bitaano, n'azaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 5: LBwD03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.