Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

ENTANDIKWA 49

49
Ekiraamo kya Yakobo
1Awo Yakobo n'ayita batabani be n'agamba nti: “Mukuŋŋaane, mbabuulire ebiribatuukako gye bujja.
2Mukuŋŋaane batabani ba Yakobo,
muwulire kitammwe Yisirayeli.
3Rewubeeni omwana wange omubereberye,
ggwe maanyi gange,
omwana ow'obuvubuka bwange,
asinga okwekuza n'obukaali.
4Okulugguka ng'amazzi.
Toliba mukulu,
kubanga walinnya
ku kitanda kya kitaawo
n'okiweebuula.
Wayingira mu buliri bwange.
5“Simyoni ne Leevi baaluganda,
abakwata ebitala byabwe
okukola eby'obukambwe.
6Siryetaba nabo mu nkiiko zaabwe,
wadde okwegatta nabo
mu nkuŋŋaana zaabwe,
kubanga mu busungu bwabwe,
batta abasajja,
era mu ddalu lyabwe,
baatema ente enteega.
7Obusungu bwabwe bukolimirwe,
kubanga bungi;
n'ekiruyi kyabwe kikolimirwe,
kubanga kikambwe.
Ndibagabanyaamu mu Yakobo,
ndibasaasaanyiza mu Yisirayeli.
8“Ggwe Yuda, baganda bo
banaakutenderezanga.
Abalabe bo
onoobakwatanga obulago.
Baganda bo
banaakuvuunamiranga.
9Yuda oli ng'empologoma ento:
okomyewo mwana wange,
ng'ova mu kuyigga.
Okutamye n'obwama
ng'empologoma ensajja,
oba ng'empologoma enkazi.
Ani anaakugolokosa?#Laba ne Kubal 24:9; Kub 5:5
10Yuda ye anaakwatanga
omuggo ogw'obwakabaka,
era bazzukulu be,
be banaafuganga,
okutuusa nnannyini bwakabaka lw'alijja.
Era oyo abantu gwe banaawuliranga.
11Alisiba omwana gw'embalaasi ye
ku muzabbibu,
n'endogoyi ye ento
ku muzabbibu ogusinga obulungi.
Ayoza ebyambalo bye
mu mwenge omumyufu
ogw'emizabbibu.
12Amaaso ge ganaamyukanga
olw'okunywa omwenge gw'emizabbibu,
n'amannyo ge ganaatukulanga,
olw'okunywa amata.
13“Zebbulooni anaabeeranga
kumpi n'ennyanja.
Olubalama lwe lunaabanga
mwalo gw'amaato.
Ensalo ye eneebanga ku Sidoni.
14“Yissakaari
ye ndogoyi ey'amaanyi,
egalamira mu bisibo by'endiga.
15Alaba ng'ekifo ekiwummulirwamu kirungi,
era nga n'ensi yeesiimisa,
n'akutamya ekibegabega kye okwetikka,
n'afuuka omuddu
akakibwa okukola emirimu.
16“Daani, ng'ekimu
ku bika bya Yisirayeli,
aneeramuliranga abantu be.
17Daani anaabanga omusota mu kkubo,
ogubojja embalaasi ebinuulo,
agyebagadde n'awanukako n'agwa.
18“Nkulindiridde ondokole, ayi Mukama.
19Gaadi alizindibwa
ekibinja ky'abanyazi,
naye alibalumba n'abawondera.
20“Ettaka lya Aseri
linaabanga ggimu
eribaza emmere.
Anaaleetanga enva
ezisaanira kabaka.
21Nafutaali
ye mpeewo etaayaaya,
ezaala abaana baayo abalungi.#49:21 ezaala abaana baayo abalungi: Oba “Ayogera ebigambo ebirungi.”
22“Yosefu gwe muti ogubala ennyo,
oguli okumpi n'ensulo y'amazzi,
amatabi gaagwo gaagaagadde
waggulu w'ekisenge.
23Abalabe be bamulumba n'obukambwe,
ne bamulasa n'obusaale bwabwe,
era ne bamuyigganya.
24Naye omutego gwe ne gunywerera ddala,
emikono gye ne giweebwa amaanyi
agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo,
Omusumba era Omukuumi wa Yisirayeli.
25Oyo Ye Katonda wa kitaawo,
era Ye anaakuyambanga.
Ye Muyinzawaabyonna anaakuwanga omukisa
n'emikisa egiva waggulu mu ggulu,
n'emikisa egiva wansi mu ttaka,
n'emikisa egy'okuzaala n'okuyonsa.
26Emikisa gya kitaawo,
gisingira ddala emikisa
egy'oku nsozi ez'olubeerera
n'ebirungi eby'oku busozi obutaggwaawo.
Emikisa egyo gibeerenga
ku mutwe gwa Yosefu,
ku bisige by'oyo
eyayawulibwa ku baganda be.
27“Benyamiini gwe musege ogunyaga.
Ku makya anaalyanga by'ayizze,
akawungeezi anaagabananga by'anyaze.”
28Ebyo byonna bye bika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli, era ebyo bye bigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu ku bo omukisa ogwamusaanira.
Okufa n'okuziikibwa kwa Yakobo
29Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti: “Ŋŋenda okutwalibwa eri bajjajjange. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efurooni Omuhiiti, 30e Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu yagula empuku eyo wamu n'ennimiro, ku Efurooni Omuhiiti, ebe obutaka obw'okuziikangamu.#Laba ne Nta 23:3-20 31Omwo mwe baaziika Aburahamu ne Saara mukazi we, mwe baaziika ne Yisaaka ne mukazi we Rebbeeka, era omwo mwe baaziika Leeya.#Laba ne Nta 25:9-10; 35:29 32Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku Bahiiti.” 33Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'atwalibwa eri bajjajjaabe.#Laba ne Bik 7:15

Actualmente seleccionado:

ENTANDIKWA 49: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión