YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 15

15
Obulombolombo bw'Abayudaaya
(Laba ne Mak 7:1-13)
1Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne bava e Yerusaalemu, ne bajja awali Yesu, ne bagamba nti: 2“Lwaki abayigirizwa bo tebafa ku bulombolombo bwa bajjajjaffe? Bwe baba bagenda okulya emmere, tebanaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwe bulagira?”
3Yesu n'abaddamu nti: “Lwaki nammwe temufa ku kiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe? 4Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’#Laba ne Kuv 20:12; 21:17; Ma 5:16; Leev 20:9 5Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’ 6aba takyawalirizibwa kuyamba kitaawe. Bwe mutyo mwadibya ekiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe. 7Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:
8‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa
mu bigambo bugambo,
naye emitima gyabwe, tegindiiko.#Laba ne Yis 29:13
9N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu,
kubanga ebigambo by'abantu obuntu
bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ”
Ebyonoona empisa z'omuntu
(Laba ne Mak 7:14-23)
10Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Muwulirize era mwetegereze: 11ebyo omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo by'ayogera bye bizoonoona.”
12Awo abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?”
13Yesu n'addamu nti: “Buli kimera ekitaasimbibwa Kitange ow'omu ggulu, kirisimbulwa. 14Mubaleke abo bakulembeze bamuzibe. Muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.”#Laba ne Luk 6:39
15Awo Peetero n'amuddamu nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero olwo.”
16Yesu n'agamba nti: “Nammwe temutegedde? 17Temulaba nti buli kintu ekiriibwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kifuluma? 18Naye ebyogerwa biva mu mutima, era ebyo bye byonoona empisa z'omuntu.#Laba ne Mat 12:34 19Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okwogera obubi ku balala. 20Bino bye byonoona empisa z'omuntu. Naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo ng'obulombolombo bwe bulagira, tekizoonoona.”
Omukazi eyalina okukkiriza
(Laba ne Mak 7:24-30)
21Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaga mu kitundu ky'e Tiiro ne Sidoni. 22Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!”
23Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!”
24Yesu n'addamu nti: “Saatumibwa walala okuggyako eri abantu ba Yisirayeli abaabula.”
25Awo omukazi n'ajja n'asinza Yesu nga bw'agamba nti: “Ssebo, nnyamba!”
26Yesu n'addamu nti: “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'esuulirwa obubwa.”
27Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
28Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo.
Yesu awonya abantu bangi
29Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula. 30Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya. 31Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
Yesu akkusa abantu enkumi nnya
(Laba ne Mak 8:1-10)
32Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.”
33Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?” 34Yesu n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu, n'obwennyanja mpa we buzira.”
35Awo n'alagira abantu batuule wansi. 36N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu. 37Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu. 38Abo abaalya, baali abasajja enkumi nnya, awatali kubala bakazi na baana.
39Awo Yesu n'asiibula abantu, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kitundu ky'e Magadani.

Currently Selected:

MATAYO 15: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in