YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 12

12
Etteeka lya Sabbaato
(Laba ne Mak 2:23-28; Luk 6:1-5)
1Mu biseera ebyo, Yesu n'ayita mu nnimiro z'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato. Abayigirizwa be baali balumwa enjala, ne batandika okunoga ku birimba, ne balya.#Laba ne Ma 23:25 2Abafarisaayo abamu bwe baalaba ekyo, ne bagamba Yesu nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato!”
3Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako Dawudi kye yakola, ye ne be yali nabo bwe baalumwa enjala?#Laba ne 1 Sam 21:1-7 4Yayingira mu Ssinzizo, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, sso nga gyali tegimukkirizibwa, wadde abo be yali nabo, okugirya, wabula nga gikkirizibwa bakabona bokka.#Laba ne Leev 24:9 5Oba temusomangako mu Mateeka nti: ku Sabbaato, mu Ssinzizo, bakabona bamenya etteeka lya Sabbaato ne bataba na musango?#Laba ne Kubal 28:9-10 6Naye mbagamba nti asinga Essinzizo ekitiibwa ali wano. 7Era singa mumanyi amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala naye si kitambiro,’ temwandinenyezza batalina musango.#Laba ne Mat 9:13; Hos 6:6 8Kubanga Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
Yesu awonya omuntu ow'omukono ogukaze
(Laba ne Mak 3:1-6; Luk 6:6-11)
9Awo Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe. 10Mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze. Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamubuuza nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato?”
11Yesu n'abaddamu nti: “Ani ku mmwe aliba n'endiga ye emu, n'egwa mu bunnya ku Sabbaato, ataligikwata n'agiggyamu?#Laba ne Luk 14:5 12Omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? N'olwekyo kikkirizibwa okukolera omuntu obulungi ku Sabbaato.”
13Awo n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala, ne guba ng'omulala. 14Abafarisaayo bwe baafuluma, ne bakuba olukiiko bateese nga bwe banaazikiriza Yesu.
Omuweereza wa Katonda
15Yesu bwe yamanya olukwe olw'okumutta, n'ava mu kifo ekyo. Abantu bangi ne bamugoberera, n'awonya abalwadde bonna. 16N'abagaana okumwatuukiriza, 17ekyo omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti:
18“Ono ye muweereza wange
gwe nalondamu,
gwe njagala,
asanyusa omutima gwange.
Ndimuteekako Mwoyo wange,
n'ategeeza amawanga eby'amazima.#Laba ne Yis 42:1-3
19Taliyomba, talireekaana,
era tewaliba awulira
ddoboozi lye mu nguudo.
20Olumuli olumenyese
talirukutula,
n'enfuuzi enyooka
taligizikiza.
Alituusa amazima ku buwanguzi.
21Amawanga gonna
galisuubira mu linnya lye.”
Yesu ne Beeluzebuli
(Laba ne Mak 3:20-30; Luk 11:14-23)
22Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko omwoyo omubi, nga muzibe era nga kasiru, n'amuwonya. N'asobola okwogera n'okulaba. 23Abantu bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono ye Muzzukulu wa Dawudi?”
24Naye Abafarisaayo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ono agoba emyoyo emibi ku bantu, nga takozesa buyinza bwa mulala, wabula obwa Beeluzebuli, omukulu waagyo.”#Laba ne Mat 9:34; 10:25
25Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe kiba kibuga oba maka, abantu baamu bwe beesalamu ne balwanagana, bisasika.
26“Ne Sitaani bw'agoba Sitaani ku bantu, aba yeesazeemu. Kale obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? 27Era oba nga nze ngoba emyoyo emibi ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kale nno bo be bajja okubasalira mmwe omusango. 28Naye oba nga emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Mwoyo wa Katonda, kino kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe.
29“Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'okunyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kusiba ow'amaanyi oyo? Olwo lw'asobola okunyaga eby'omu nnyumba ye.
30“Ataba ku ludda lwange, mulabe wange. Era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya.#Laba ne Mak 9:40 31Kyenva mbagamba nti abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, n'okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna. Kyokka buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa. 32Era buli ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa. Kyokka oyo ayogera obubi ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa newaakubadde mu mulembe guno, wadde mu mulembe ogugenda okujja.#Laba ne Luk 12:10
Omuti n'ebibala byagwo
(Laba ne Luk 6:43-45)
33“Omuti muguyite mulungi, ng'ebibala byagwo birungi, muguyite mubi, ng'ebibala byagwo bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.#Laba ne Mat 7:20; Luk 6:44 34Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, muyinza mutya okwogera ebirungi nga muli babi? Kubanga ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.#Laba ne Mat 3:7; 23:33; 15:18; Luk 3:7; 6:45 35Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola ebibi.
36“Era mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu mugaso abantu kye boogera, balikiwoza ku lunaku olulisalirwako emisango. 37Kubanga ku bigambo byo kw'olisalirwa omusango: n'osinga, oba ne gukusalirwa okukusinga.”
Okusaba akabonero
(Laba ne Mak 8:11-12; Luk 11:29-32)
38Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero k'otuwa, akakakasa obuyinza bwo.”#Laba ne Mat 16:1; Mak 8:11; Luk 11:16
39Yesu n'abaddamu nti: “Abantu b'omulembe guno ababi, abava ku Katonda, basaba akabonero. Naye tewali kabonero kajja kubaweebwa, okuggyako akabonero ka Yona omulanzi.#Laba ne Mat 16:4; Mak 8:12 40Kuba nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku essatu, ekiro n'emisana, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'aliba mu ttaka munda ennaku ssatu, ekiro n'emisana.#Laba ne Yow 1:17
41“Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga. Kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda. Naye laba, asinga Yona ali wano.#Laba ne Yon 3:5
42“Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga. Kubanga yava ku nkomerero y'ensi, n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba, asinga Solomooni ali wano.#Laba ne 1 Bassek 10:1-10; 2 Byom 9:1-12
Okudda kw'omwoyo omubi
(Laba ne Luk 11:24-26)
43“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira, ne gutazuulawo. 44Ne gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa era ng'etegekeddwa bulungi. 45Olwo ne gugenda ne guleeta emyoyo emibi emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma n'eba mbi okusinga eyasooka. Bwe kityo bwe kiriba ne ku bantu ab'omulembe guno omubi.”
Baganda ba Yesu ne nnyina
(Laba ne Mak 3:31-35; Luk 8:19-21)
46Yesu yali akyayogera n'ekibiina ky'abantu, baganda be ne nnyina ne bajja, ne bayimirira wabweru, nga baagala okwogera naye. 47Omuntu omu n'amugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde wabweru, baagala okwogera naawe.”
48Yesu n'addamu oyo amubuulidde, n'agamba nti: “Aba muntu wa ngeri ki gwe mpita mmange, era baba bantu ba ngeri ki be mpita baganda bange?” 49N'agolola omukono eri abayigirizwa be n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano. 50Buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.”

Currently Selected:

MATAYO 12: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in