YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 11

11
Yowanne Omubatiza atuma ababaka
(Laba ne Luk 7:18-35)
1Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza by'alagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ava mu kifo ekyo, n'agenda okuyigiriza n'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu bibuga byabwe.
2Yowanne Omubatiza bwe yali mu kkomera, n'awulira Kristo by'akola, n'atuma abamu ku bayigirizwa be 3okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?” 4Yesu n'abaddamu nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye muwulira ne bye mulaba: 5ababadde bamuzibe balaba, ababadde abalema batambula, abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi.#Laba ne Yis 35:5-6; 61:1 6Wa mukisa atambuusabuusaamu.”
7Abo bwe baagenda, Yesu n'atandika okutegeeza abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo? 8Kale mwagenda kulaba ki? Abo abambala engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ezinekaaneka, basangibwa mu mbiri za bakabaka. 9Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala, mbagamba nti asinga n'omulanzi. 10Kubanga Yowanne ono, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, nze ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'olaga.’#Laba ne Mal 3:1
11“Mazima mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, asinga Yowanne ono ekitiibwa.
12“Okuva Yowanne Omubatiza lwe yajja, okutuusa kati, Obwakabaka obw'omu ggulu bulwanyisibwa n'amaanyi, era ab'amaanyi babunyaga.#Laba ne Luk 16:16 13Amateeka n'abalanzi bonna, okutuusa Yowanne lwe yajja, baalanga ebifa ku Bwakabaka. 14Era oba nga mwagala okumanya, Yowanne ye Eliya ateekwa okujja.#Laba ne Mal 4:5; Mat 17:10-13; Mak 9:11-13 15Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16“Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Bafaanana ng'abaana abato abatuula mu katale, ne bakoowoola bannaabwe, 17ne bagamba nti: ‘Twabafuuyira endere, ne mutazina! Twakuba ebiwoobe, ne mutakaaba!’
18“Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa, ne bagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi.’ 19Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Omuntu ono wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”
Ebibuga ebitalina kukkiriza
(Laba ne Luk 10:13-15)
20Awo Yesu n'atandika okunenya ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga abantu baamu tebeenenya. N'agamba nti: 21“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza 22Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe.
23“Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumira okutuuka mu bire? Nedda, ogenda kussibwa wansi emagombe: kubanga ebyamagero ebyakolerwa mu ggwe, singa byali bikoleddwa mu Sodoma, singa weekiri ne kaakano.#Laba ne Yis 14:13-15; Nta 19:24-28 24Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Sodoma kiribonerezebwa katono okusinga ggwe.”#Laba ne Mat 10:15; Luk 10:12
Mujje gye ndi muwummule
(Laba ne Luk 10:21-22)
25Mu kiseera ekyo, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. 26Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala.
27“Kitange byonna yabimpa, ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange, era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.#Laba ne Yow 3:35; 1:18; 10:15
28“Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakoze ne mukoowa n'abazitoowereddwa, nze nnaabawummuza. 29Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mwoyo, mulizuulira emyoyo gyammwe ekiwummulo.#Laba ne Yer 6:16 30Kubanga ekikoligo kye mbawa kyangu, n'omugugu gwe mbatikka si muzito.”

Currently Selected:

MATAYO 11: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in