YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 10

10
Abatume ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mak 3:13-19; Luk 6:12-16)
1Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abawa obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu, n'okuwonyanga abantu endwadde zonna n'obuyongobevu bwonna. 2Amannya g'abatume ekkumi n'ababiri ge gano: omubereberye, Simooni Peetero, ne Andereya muganda we; ne Yakobo, ne muganda we Yowanne, batabani ba Zebedaayo; 3ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Tomasi, ne Matayo omusolooza w'omusolo; ne Yakobo mutabani wa Alufaayo; ne Taddaayo, 4ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.
Yesu atuma abayigirizwa ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mak 6:7-13; Luk 9:1-6)
5Abo ekkumi n'ababiri Yesu n'abatuma, n'abakuutira ng'abagamba nti: “Temugenda mu b'amawanga amalala, era temuyingira mu bibuga bya Basamariya. 6Naye mugende eri abantu ba Yisirayeli abaabula. 7Mugende mutegeeze abantu nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’#Laba ne Luk 10:4-12 8Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, mugobe emyoyo emibi ku bantu. Mwaweebwa buweebwa, nammwe mugabe. 9Temutwala zaabu newaakubadde ffeeza, newaakubadde ssente ez'ekikomo mu nsawo zammwe, 10newaakubadde ensawo ey'olugendo, newaakubadde ekkanzu eyookubiri, newaakubadde engatto, wadde omuggo: kubanga omukozi asaanira okuweebwa bye yeetaaga.#Laba ne 1 Kor 9:14; 1 Tim 5:18
11“Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, munoonye omuntu ayagala okubaaniriza, musule ewuwe okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo. 12Bwe muyingira mu nnyumba, mugambe nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’ 13Singa abantu ab'omu nnyumba eyo babaaniriza, emirembe gye mubaagalizza girisigala nabo. Naye bwe batalibaaniriza, emirembe gye mubaagalizza giridda gye muli. 14Singa bagaana okubaaniriza mu nnyumba oba mu kibuga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako n'enfuufu eba ebakutte ku bigere.#Laba ne Bik 13:51 15Mazima mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, ensi y'e Sodoma ne Gomora eriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.#Laba ne Mat 11:24; Nta 19:24-28
Okuyigganyizibwa okugenda okujja
(Laba ne Mak 13:9-13; Luk 21:12-17)
16“Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa.#Laba ne Luk 10:3 17Mwerinde, kubanga walibaawo abantu abalibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Era balibakubira mu makuŋŋaaniro gaabwe.#Laba ne Mak 13:9-11; Luk 12:11-12; 21:12-15 18Mulitwalibwa mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, mutuuse ku bo ne ku b'amawanga amalala Amawulire Amalungi. 19Naye bwe babakwatanga ne babawaayo, temweraliikiriranga nti: Tunaayogera tutya, oba nti: Tunaayogera ki? Muliweebwa mu kaseera ako, kye mulyogera, 20kubanga si mmwe mulyogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe.
21“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera abazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.#Laba ne Mak 13:12; Luk 21:16 22Mmwe, abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Kyokka oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.#Laba ne Mat 24:9,13; Mak 13:13; Luk 21:17 23Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Mazima mbagamba nti: temulimalayo bibuga bya Yisirayeli nga Omwana w'Omuntu tannajja.
24“Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, n'omuddu tasinga mukama we.#Laba ne Luk 6:40; Yow 13:16; 15:20 25Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga nnannyinimu bamuyise Beeluzebuli, ab'omu maka ge kiki kye batalibayita!#Laba ne Mat 9:34; 12:24; Mak 3:22; Luk 11:15
Oyo ateekwa okutiibwa
(Laba ne Luk 12:2-7)
26“Kale nno temubatyanga, kubanga buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.#Laba ne Mak 4:22; Luk 8:17 27Kye mbabuulira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana. Kye muwulira mu kaama, mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba.
28“Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira.
29“Enkazaluggya bbiri tezigula ssente emu? Naye tewali n'emu ku zo egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde. 30N'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. 31Kale nno temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.
Okwatula n'okwegaana Yesu
(Laba ne Luk 12:8-9)
32“Buli anjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33Kyokka oyo anneegaana mu maaso g'abantu, nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.#Laba ne 2 Tim 2:12
Si mirembe naye kitala
(Laba ne Luk 12:51-53; 14:26-27)
34“Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi. Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. 35Najja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.#Laba ne Mi 7:6 36Era abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.
37“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. Era oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. 38N'oyo ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tansaanira.#Laba ne Mat 16:24; Mak 8:34; Luk 9:23 39Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.#Laba ne Mat 16:25; Mak 8:35; Luk 9:24; 17:33; Yow 12:25
Okuweerwa empeera
(Laba ne Mak 9:41)
40“Ayaniriza mmwe ng'ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, ng'ayanirizza oyo eyantuma.#Laba ne Mak 9:37; Luk 9:48; 10:16; Yow 13:20 41Ayaniriza omulanzi olw'okuba nga mulanzi, alifuna empeera ng'ey'omulanzi. Era ayaniriza omuntu akola Katonda by'ayagala, olw'okuba ng'akola Katonda by'ayagala, alifuna empeera ng'ey'omuntu akola Katonda by'ayagala. 42Mazima mbagamba nti: buli awa omu ku bano abato eggiraasi y'amazzi obuzzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.”

Currently Selected:

MATAYO 10: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in