YouVersion Logo
Search Icon

MALAKI 3

3
1Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: “Nja kutuma omubaka wange okunjerulira ekkubo, era Mukama gwe munoonya, alijja mu Ssinzizo lye nga tebamanyiridde. N'omubaka gwe mulindirira, alijja n'alangirira endagaano yange.”#Laba ne Mat 11:10; Mak 1:2; Luk 1:76; 7:27
2Naye ani aliyinza okugumira olunaku lw'alijjirako? Era bw'alirabika, ani aliguma okuyimirira? Kubanga ali ng'omuliro ogutukuza ebyuma, era nga sabbuuni gwe boozesa.#Laba ne Yol 2:11; Kub 6:17 3Alituula okusala omusango, ng'ali ng'oyo alongoosa ffeeza n'amutukuza. Alitukuza bazzukulu ba Leevi, balyoke bawengayo eri Mukama ebirabo ebituufu. 4Olwo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ebirabo bye bawaayo eri Mukama birimusanyusa, nga bwe gwali edda.
5Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndijja mu mmwe ne nsala omusango. Era amangwago ndirumiriza abalogo n'abenzi, n'abalayira eby'obulimba, n'abalyazaamaanya empeera y'abakozi, n'ababonyaabonya bannamwandu ne bamulekwa, n'abanyaga eby'abagwira, era ndirumiriza n'abo bonna abatanzisaamu kitiibwa.
Okuwangayo ekitundu ekimu eky'ekkumi
6“Nze Mukama, sikyukakyuka, era mmwe bazzukulu ba Yakobo kyemuva mulema okumalibwawo. 7Mmwe, nga bajjajjammwe, muvudde ku biragiro byange, ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nja kudda gye muli. Naye mwebuuza nti: ‘Tukole ki okudda gy'oli?’ 8Si kituufu omuntu okunyaga ebya Katonda. Naye mmwe munnyagako ebyange, ate ne mubuuza nti: ‘Tubikunyagako tutya?’ Mubinnyagirako mu bitundu eby'ekkumi ne mu birabo bye muntonera. 9Muvumiriddwa, kubanga mmwe eggwanga eddamba munyaga ebyange. 10Muleete ebitundu eby'ekkumi ebijjuvu mu ggwanika ly'Essinzizo lyange, libeeremu emmere nnyingi. Mungeze mulabe oba nga siribaggulirawo ggulu, ne mbayiwako emikisa mingi nnyo.#Laba ne Leev 27:30; Kubal 18:21-24; Ma 12:6; 14:22-29; Neh 13:12 11Sirireka biwuka kuzikiriza birime byammwe. N'emizabbibu mu nnimiro zammwe tegirirema kubala. 12Olwo abantu ab'omu mawanga gonna balibayita mmwe ba mukisa, kubanga ensi yammwe eriba nnungi okubeeramu.”
Mukama asuubiza okuba ow'ekisa
13Mukama agamba nti: “Munjogeddeko ebitali birungi. Naye mugamba nti: ‘Tukwogeddeko ki?’ 14Mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda tekigasa. Kigasa ki okukola by'alagira, oba okulaga Mukama Nnannyinimagye nti tunakuwadde? 15Era kaakano abo abeekulumbaza be tuyita ab'omukisa. Aboonoonyi tebakoma ku kya ku beera bulungi kyokka, naye era bakema Katonda ne batabonerezebwa.’ ”
16Awo abantu abatya Mukama banyumiza wamu, Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera. Mu maaso ge ne wabaawo ekitabo ekyawandiikibwa okujjukirirako abo abamutya, era abamussaamu ekitiibwa. 17Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Baliba bantu bange. Ku lunaku lwe ndikolerako, baliba bange ddala. Ndibasaasira ng'omusajja bw'asaasira mutabani we amuweereza. 18Olwo muliddamu okulaba enjawulo wakati w'omutuukirivu n'omubi, wakati w'oyo ampeereza nze Katonda, n'oyo atampeereza.”

Currently Selected:

MALAKI 3: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in