YouVersion Logo
Search Icon

MALAKI 2

2
1Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Kino kye kiragiro kye mbawa mmwe bakabona: 2muteekwa okunzisaamu ekitiibwa mu ebyo bye mukola. Bwe mutaafengayo kuwulira bye ŋŋamba, ndibateekako ekikolimo, era nditeeka ekikolimo ku bye mufuna okubayimirizaawo. Ddala mmaze okubiteekako ekikolimo, kubanga ekiragiro kyange temukissaako mwoyo. 3Ndibonereza abaana bammwe, era ndisiiga mu maaso gammwe obusa bw'ensolo ze mutambidde, ne muggyibwawo wamu nabwo. 4Olwo mulimanya nga nze nabawa mmwe ekiragiro kino, endagaano gye nakola ne bakabona, bazzukulu ba Leevi, ereme kumenyebwa.#Laba ne Kubal 3:11-13
5“Mu ndagaano yange, nabasuubiza okubawa obulamu n'emirembe. Era nabibawa balyoke banzisengamu ekitiibwa. Mu biro ebyo, banzisangamu ekitiibwa era bantyanga.#Laba ne Kubal 25:12 6Baayigirizanga bituufu sso si bikyamu. Baabeeranga wamu nange mu ddembe, nga ba mpisa nnungi, era baalesangayo bangi okukola ebibi, 7kubanga mulimu gwa bakabona okuyigiriza abantu bammanye. Era abantu bandigenzenga gye bali okuyiga bye njagala bakole, kubanga be babaka ba Mukama Nnannyinimagye.
8“Naye mmwe bakabona, muvudde mu kkubo ettuufu ne muwaba. Bye muyigiriza bireetedde bangi okukola ebikyamu. Mumenya endagaano gye nakola nammwe. 9Kyenvudde mbafuula aba wansi era abanyoomebwa mu bantu bonna, kubanga temukola bye mbalagira, era bwe muba muyigiriza abantu bange, mukozesa kusosola.”
Abantu abakuusa
10Ffenna tetulina kitaffe omu? Katonda tali omu eyatutonda? Kale lwaki tuba abakuusa eri bannaffe? Era lwaki tunyooma endagaano, Katonda gye yakola ne bajjajjaffe? 11Abantu b'omu Buyudaaya bafuuse bakuusa, ne bakola ekyenyinyalwa mu Yerusaalemu ne mu Yisirayeli yonna. Boonoonye Essinzizo lya Mukama ly'ayagala. Bawasizza abakazi abasinza balubaale. 12Buli musajja eyakola ekyo, Mukama amuggye mu Bayisirayeli, era aleme kumukkiriza kuddamu kwetaba wamu na ba ggwanga lyaffe nga batonera Mukama Nnannyinimagye ebirabo.
13Ekirala kye mukola kye kino: alutaari ya Mukama mugitobya amaziga, nga mukaaba era nga mukuba ebiwoobe, kubanga Mukama takyasiima bye mumuleetera. 14Mwebuuza ekimugaana okubisiima. Tabisiima, kubanga mumenyeewo endagaano ey'obufumbo gye mwakola n'abakazi be mwawasa mu buvubuka bwammwe. Be bannammwe be mwakola nabo endagaano nga Mukama ye mujulirwa, naye ne mutaba beesigwa. 15Katonda teyatonda omuntu ng'alina omubiri n'omwoyo ogw'obulamu? Ky'ayagala kwe kumuzaalira abaana abamutya. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa eri omukazi gwe yawasa mu buvubuka bwe. 16Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.”
Olunaku olw'okusalirako omusango luli kumpi
17Mukooyezza Mukama n'ebigambo bye mwogera. Naye mwebuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Mumukooyezza nga mugamba nti: “Buli akola ebibi, aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira.” Oba nga mwebuuza nti: “Katonda omwenkanya ali ludda wa?”

Currently Selected:

MALAKI 2: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in