YouVersion Logo
Search Icon

MALAKI 1

1
1Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki okutegeeza Abayisirayeli.
Mukama ayagala Abayisirayeli
2Mukama agamba abantu be nti: “Nabaagala. Naye ne mugamba nti: ‘Watwagala otya?’ Esawu ne Yakobo baali baaluganda. Naye nayagala Yakobo,#Laba ne Bar 9:13#Laba ne Yis 34:5-17; 63:1-6; Yer 49:7-22; Ezek 25:12-14; 35:1-15 Amo 1:11-12; Ob 1-14 3ne nkyawa Esawu. Ensozi za Esawu nazifuula matongo, ensi ye ne ngiwa ebibe eby'omu ddungu.”
4Singa bazzukulu ba Edomu bagamba nti: “Ebibuga byaffe bizikiriziddwa, naye tujja kubizimba buggya,” Mukama Nnannyinimagye ajja kugamba nti: “Ka bazimbe, naye nja kubimenyawo. Banaayitibwanga ‘Eggwanga erikola ebibi’, era ‘Abantu Mukama b'asunguwalira ennaku zonna.’ ”
5Abayisirayeli baliraba kino, ne bagamba nti: “Mukama mukulu n'ebweru w'ensi ya Yisirayeli.”
Mukama anenya bakabona
6Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’ 7Munnyoomye, kubanga muwaddeyo ku alutaari yange emigaati egyonoonese. Era mubuuza nti: ‘Tugyonoonye tutya?’ Mugyonoonye, kubanga mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama si ya kitiibwa.’ 8Bwe muleeta ensolo ezizibye amaaso, oba ennema, oba endwadde okuzintambirira, mulowooza nti ekyo si kikyamu? Kale ensolo ng'ezo muzitonere abafuzi bammwe. Banaabasanyukira? Banaabasiima?”#Laba ne Ma 15:21
9Kaakano mmwe bakabona, musabe Katonda atukwatirwe ekisa, kubanga mmwe mwavaako omutawaana. Waliwo ku mmwe gw'anaasiima? 10Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Singa nno omu ku mmwe aggalawo enzigi z'Essinzizo, ne mutakumira bwereere muliro ku alutaari yange! Sibasanyukira n'akatono, era sikkiriza birabo bye muntonera. 11Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, abantu banzisaamu ekitiibwa. Wonna wonna bannyookereza obubaane, era bampa ebitambiro ebirongoofu. Bonna banzisaamu ekitiibwa. 12Naye mmwe munnyooma, bwe mugamba nti: ‘Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'emmere yaakwo si ya kitiibwa.’ 13Mugamba nti: ‘Ebyo byonna tubikooye!’ Era ne mwesooza! Ensolo gye mwanyaga, oba ennema, oba endwadde, gye muleeta okuntonera. Mulowooza nti eyo nnyinza okugikkiriza? 14Oyo omukumpanya, eyeeyama okumpa ennume ye ennungi gy'alina mu kisibo kye, ate n'antambirira ennema, akolimirwe, kubanga nze ndi Kabaka mukulu, era abantu ab'omu mawanga gonna bantya.”

Currently Selected:

MALAKI 1: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in