YouVersion Logo
Search Icon

HABAKUUKU 3

3
Okusaba kwa Habakuuku
1Kuno kwe kusaba
kw'omulanzi Habakuuku
mu ddoboozi ng'ery'okukungubaga.
2Ayi Mukama,
mpulidde ky'okoze ne ntya.
Kaakati ddamu okukola
ebyo bye wakolanga edda.
Saasira ne bw'osunguwala!
3Katonda omutuukirivu ajja
ng'ava mu Temani
ne ku Lusozi Parani.
Ekitiibwa kye kibikka eggulu,
n'ensi yonna emutendereza.
4Ekitiibwa kye kiri ng'enjuba evaayo.
Omukono gwe omukwekeddwa obuyinza bwe,
gumyamyansa.
5Atuma Kawumpuli okumukulemberamu,
alagira Walumbe okumuvaako emabega.
6Bw'asibamu, n'akankanya ensi.
Bw'atunula, amawanga gayuuguuma,
ensozi ez'olubeerera ne ziggweerera,
obusozi obutaggwaawo
ne bubulira wansi.
Ekkubo lye ne liba
nga bwe lyali edda.
7Nalaba ab'e Kusani nga batidde,
n'ab'e Midiyaani nga bakankana!
8Ayi Mukama, okwebagala ku mbalaasi zo,
ku magaali go ggwe omuwanguzi
wasunguwalira migga?
Oba wanyiigira nnyanja?
9Wasowolayo omutego gwo
n'oguteekako obusaale okulasa.
Ensi wagyasaamu
n'ekulukuta emigga.
10Ensozi zaakulaba ne zitya!
Mukoka ow'amaanyi
yakulugguka n'ayitawo.
Ennyanja yayira,
n'esitula amayengo gaayo.
11Enjuba n'omwezi tebyavaayo
olw'okutangaala
kw'obusaale bwo obuyita,
n'okwakaayakana
kw'effumu lyo erimasamasa.
12Watambula n'oyita mu nsi
ng'oliko ekiruyi,
n'olinnyirira amawanga
ng'osunguwadde.
13Weesowolayo okulokola abantu bo,
okulokola oyo omusiige wo.
Wabetenta omukulembeze w'ababi,
n'ozikiriza b'atwala.
14Wakozesa obusaale bwo
n'ofumita omuduumizi w'eggye lye,
eryajja ng'embuyaga y'akazimu
okutusaanyaawo nga lisanyuka,
ng'erigenda okutigomya abaavu,
abatalina bwogerero.
15Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo,
amayengo ag'amaanyi
ne gabimba ejjovu.
16Nawulira ebyo byonna ne nkankana,
emimwa ne ginjugumira olw'okutya,
amagumba gange ne galemala.
Ne nkankanira we nnyimiridde!
Ndisirika ne nnindirira olunaku
Katonda lw'alibonereza abatulumba.
17Emitiini ne bwe gitamulisa,
n'emizabbibu ne gitabala,
emizayiti ne bwe gifa,
emmere mu nnimiro n'etekula,
embuzi ne bwe ziggwa mu kisibo,
n'ente ne zitaba mu biraalo
18naye era ndisanyuka ne njaguza
kubanga Mukama, Katonda,
ye Mulokozi wange.
19Mukama, Katonda ye ampa amaanyi.
Bwe ntambula ku nsozi,
ye anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo.#Laba ne 2 Sam 22:34; Zab 18:33
Ebyo bya mukulu w'abayimbi,
ebigendera ku bivuga byange eby'enkoba.

Currently Selected:

HABAKUUKU 3: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in