SUSANNA 1
1
Obulungi bwa Susanna busikiriza abalamuzi ababiri
1Mu Babilooni mwalimu omusajja, Omuyudaaya, erinnya lye Yowakimu. 2Yawasa omukazi ayitibwa Susanna, muwala wa Elikiya. Susanna yali mukazi mulungi mubalagavu era ng'atya Katonda. 3Bazadde be baali bajjumbizi ba ddiini, era baagunjula muwala waabwe okukwatanga Amateeka ga Musa. 4Yowakimu yali mugagga nnyo. Ennyumba ye yali yeetoloddwa ennimiro, Bayudaaya banne mwe baateranga okukuŋŋaanira, kubanga bonna baamussangamu ekitiibwa.
5Mu mwaka ogwo, waaliwo abasajja abakulu babiri, abaalondebwa mu bantu ne baweebwa obulamuzi. Be bano Mukama be yayogerako nti: “Obugwagwa buyingidde mu Babilooni. Abalamuzi balemeddwa okuluŋŋamya abantu.” 6Bano emirundi mingi baalaganga mu maka ga Yowakimu, abantu ne bajja okubawolezanga emisango.
7Abantu bonna bwe babanga bazzeeyo mu maka gaabwe mu budde obw'ettuntu, Susanna yateranga okutambulako mu nnimiro ya bba. 8Abasajja abakulu ababiri baamulabanga buli lunaku ng'agenda okutambulako, ne bamwegomba nnyo, 9ne batuuka n'okuggwaamu amagezi, ne beerabira n'okusabanga Katonda, n'okusalanga emisango mu bwenkanya. 10Buli omu ku bo yali yeegomba Susanna, naye tewali yabuulirako munne, 11kubanga buli omu yawuliranga ensonyi okulaga amaddu ge g'awulira. 12Kale buli lunaku baaliimisanga basobole okumulabako.
13Olumu mu budde obw'ettuntu ne bagambagana nti: “Obudde bw'ekyemisana butuuse, tudde eka.” 14Ne baawukana, buli omu n'akwata lirye. Naye beetooloolako katono bombi ne bakomawo era ne basisinkana. Buli omu n'abuuza munne ensonga emukomezzaawo. Oluvannyuma bombi ne baatula bwe baagala Susanna. Olwo ne bateeseza wamu okuzuula akadde lwe balimukwatiriza ng'ali bw'omu.
15Olwatuuka baali bakyakuuma akadde akatuufu, Susanna n'ajja mu nnimiro nga bulijjo, ng'ali n'abawala abaweereza babiri. N'ayagala okunaabirako mu nnimiro, kubanga ebbugumu lyali lingi. 16Tewaali bantu balala, okuggyako abalamuzi ababiri abaali beekwese nga bamuketta 17N'agamba abawala abaweereza nti: “Mundeetere omuzigo n'ebyobuwoowo, musibewo emiryango gy'ennimiro, nnaabe.” 18Abaweereza ne basibawo emiryango eminene, ne bafulumira mu mulyango ogw'ebbali okuleeta ebyo Susanna bye yabatuma. Tebaamanya ng'abasajja abakulu ababiri baalimu nga beekwese.
19Abawala abaweereza olwafuluma abalamuzi ababiri ne bafubutuka gye baali beekwese, ne bajja eri Susanna, 20ne bamugamba nti: “Emiryango gy'ennimiro misibe, era tewali atulaba. Twegomba okwebaka naawe kale kola kye twagala. 21Bw'ogaana tujja kukulumiriza nti wabadde n'omuvubuka, kyewavudde ogobawo abawala abaweereza.”
22Awo Susanna n'assa ekikkowe, n'agamba nti: “Akabi kanneetoolodde buli ludda. Bwe nzikiriza, ndi wa kuttibwa. Bwe ŋŋaana, siri wa kubawona mmwe.#Laba ne Leev 20:10; Ma 22:22 23Naye waakiri ka nneeweeyo munzite nga sikoze kibi, okusinga lwe nnaakola ekibi mu maaso ga Mukama.” 24Susanna n'aleekaana nnyo nga bw'asobola, wabula n'abalamuzi bombi ne baleekaana nga bamulumiriza, 25era omu ku bo n'adduka n'aggulawo emiryango.
26Abaweereza ab'awaka bwe baawulira okuleekaana, ne badduka ne bajja okulaba ekiguddewo mu nnimiro. 27Abalamuzi bwe baamala okwogera ebibaddewo, abaweereza ne bafa ensonyi, kubanga ebiri ng'ebyo byali tebyogerwanga ku Susanna.
Abalamuzi balumiriza Susanna
28Ku lunaku olwaddirira, abantu bwe baakuŋŋaanira mu nnyumba ya Yowakimu, bba wa Susanna, basajjabakulu ababiri ne bajja nga bamaliridde okutuukiriza ekibi kye baali bateesezza eky'okutta Susanna. 29Ne bagamba mu maaso g'abantu bonna nti: “Mutumye muwala wa Elikiya, Susanna, muka Yowakimu.” Ne bamutumya amangwago. 30N'ajja ne bazadde be, n'abaana be, n'ab'eŋŋanda ze bonna. 31Susanna yali muwombeefu era nga mubalagavu mu ndabika ye, 32abasajja bali abagwenyufu kyebaava bamulagira yeebikkule ekitambaala ku mutwe, basanyuke okumutunulako. 33Abantu be n'abalala bonna abaali bamumanyi, baali mu maziga.
34Abalamuzi ababiri ne bayimirira mu maaso g'abantu, ne bateeka emikono gyabwe ku mutwe gwa Susanna, ne bamulumiriza. 35Susanna n'atunula eri eggulu nga bw'akaaba, kubanga yali yeesiga Mukama. 36Basajjabakulu ababiri ne batandika okumulumiriza nti: “Bwe twabadde nga tutambula nga tuli ku byaffe mu nnimiro, omukazi ono n'alagira abawala baveewo. 37Awo omuvubuka eyabadde yeekwese mu nnimiro n'ajja gy'ali, ne beebaka bombi. 38Ffe twabadde ku mabbali mu nnimiro. Bwe twalabye eky'ekivve kye bakola, ne tubafubutukira, 39ne tubakwatira mu kikolwa kyennyini. Twafubye okunyweza omuvubuka, kyokka n'atusinza amaanyi. N'adduka n'aggulawo emiryango n'atoloka. 40Naye twasobodde okukwata ono. Bwe twamubuuzizza omuvubuka, n'agaana okumutubuulira. Tulayira ng'obujulizi bwaffe bwa mazima.” 41Abantu ne babakkiriza, si lwa kuba nti basajjabakulu kyokka, naye ng'era balamuzi. Ne basalira Susanna ogw'okuttibwa.
Daniyeli awonya Susanna
42Awo Susanna n'atema omulanga ogw'omwanguka, nti: “Ayi Katonda ow'emirembe gyonna, atalina kikukwekebwa, era amanya ebitannaba kubaawo, 43omanyi bulungi nti abasajja bano bampaddeko obujulizi bwa bulimba. Naye laba ŋŋenda okufa nga sirina musango. Bano bampaayirizza. Kale nfiira ki?”
44Mukama n'awulira okusaba kwe. 45Bwe baali nga batwala Susanna okumutta, Mukama n'ateeka omwoyo omuvumu mu muvubuka, erinnya lye Daniyeli. 46Omuvubuka ono n'aleekaana nti: “Nze sisemba kya kutta muntu oyo!” 47Bonna ne bakyuka okumutunuulira, ne bamubuuza nti: “Kiki ekyo ky'ogamba?”
48Daniyeli n'abayimiriramu wakati, n'agamba nti: “Abantu ba Yisirayeli, muli babuyabuya bwe mutyo? Muyinza mutya okusingisa omukazi Omuyisirayeli omusango nga temumaze kwetegereza nsonga na kumanya mazima? 49Muddeemu okuwulira omusango. Bano obujulizi bwe bawadde okumulumiriza bwa bulimba.”
50Abantu bonna ne baddayo mangu, abantu abakulu ne bagamba Daniyeli nti: “Katonda akuwadde amagezi ag'omuntu omukulu, newaakubadde oli muto. Jjangu otuule naffe, otunnyonnyole.”
51Daniyeli n'agamba nti: “Mubaawulemu bombi, buli omu mumubuuze ku lulwe.” 52Bwe baamala okubaawulamu, Daniyeli n'ayita omu ku bo, n'agamba nti: “Musajja ggwe akaddiyidde mu bugwagwa, kaakano akadde katuuse ovunaanibwe ebibi byo byonna bye wakola. Wasalanga emisango nga togoberera bwenkanya. 53Wasalanga abatalina musango ne gubasinga n'ota abaaguzza, sso nga Mukama yagamba nti: ‘Tottanga muntu atalina musango.’#Laba ne Kuv 23:7 54Kale oba ddala bano wabalaba, yogera: wabalaba bali wansi wa muti ki?” Ono n'addamu nti: “Wansi w'omuti gw'amasanda.” 55Daniyeli n'agamba nti: “Kale, obulimba bwo bwe bunaamalawo obulamu bwo. Malayika wa Katonda amaze okulagirwa okukukutulamu ebitundu bibiri.”
56Oyo ne bamuggyawo ne baleeta omulala. Daniyeli n'amugamba nti: “Oli Mukanaani so si Muyudaaya! Obubalagavu bw'omukazi bwakusikirizza, okwegomba okubi ne kusiriwaza omutima gwo. 57Bw'otyo bwe wali omanyidde okuyiikiriza abakazi mu Yisirayeli abaakutyanga, naye osanzeeyo ono omukazi Omuyudaaya, atakkirizza bugwagwa bwo. 58Kaakati ntegeeza, wabalaba nga bali wansi wa muti ki?” Oli n'addamu nti: “Wansi w'omuvule.”
59Daniyeli n'agamba nti: “Kale, obulimba bwo bwe bunaamalawo obulamu bwo. Malayika wa Katonda akulinze ng'akutte ekitala mu ngalo, okukutemamu ebitundu bibiri. Ajja kubatta mwembi.”
60Awo abantu ne baleekaana, ne batendereza Katonda, awonya abamwesiga. 61Ne bakyukira abalamuzi ababiri, nga Daniyeli amaze okubakkirizisa mu bigambo byabwe nti baali balimbye nga bamaze okulayira. 62Amateeka ga Musa gagamba nti abantu abawa obujulizi obw'obulimba, banaaweebwanga ekibonerezo kye kimu nga gwe balumiriza kye yandiweereddwa. Bwe batyo abalamuzi ababiri ne battibwa, obulamu bw'omukazi atalina musango ne buwonyezebwa.#Laba ne Ma 19:16-21 63Abazadde ba Susanna ne bba n'ab'eŋŋanda ze bonna ne batendereza Katonda, kubanga Susanna yasangibwa nga talina musango gumuvunaanibwa. 64Okuva ku lunaku olwo Daniyeli n'assibwamu nnyo ekitiibwa.
Currently Selected:
SUSANNA 1: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.