2 ABAMAKKABEEWO 13
13
Menelaawo attibwa
1Mu mwaka 149,#13:1 omwaka 149: Gwe mwaka ogwe 163 nga Kristo tannazaalibwa. Yuda Makkabeewo n'abagoberezi be ne bamanya nga Antiyooko Ewupatori yali ajja n'eggye ddene okulumba Buyudaaya, 2era nga Lisiya omukuza we era alabirira obwakabaka ali naye. Baalina eggye ly'abaserikale Abayonaani emitwalo kkumi na gumu ab'ebigere, n'abeebagazi b'embalaasi enkumi ttaano mu bisatu, n'enjovu amakumi abiri mu bbiri, n'ebigaali ebikumi bisatu, ebiriko obwambe obwogi ku nnamuziga.
3Menelaawo naye n'abeegattako, ne yeekukuutiriza ku Antiyooko ng'amulimbalimba, si lwa kulumirwa ggwanga lye, naye ng'ayagala kukakasibwa ku Bwassaabakabona. 4Naye Katonda, Kabaka wa bakabaka, n'aleetera Antiyooko okusunguwalira Menelaawo oyo omwonoonyi. Lisiya n'akakasa Antiyooko nti Menelaawo ye avaako emitawaana gyonna, Antiyooko n'alagira okumutwala e Bereya bamuttireyo nga bwe baali bamanyidde okuttirayo abantu. 5Mu kibuga ekyo eriyo omunaala ogwa mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu ogujjudde evvu, era nga gulimu omwaliiro enjuyi zaagwo zonna nga zeewunzikidde mu vvu eryo. 6Abantu ababbye eby'omu masabo ga balubaale oba abazizza emisango emirala eminene, omwo mwe baasuulibwanga ne bafa. 7Omwo Menelaawo mwe yattirwa, n'atafuna na mukisa gwa kuziikibwa. 8Era ekyo kye kyamusaanira, kubanga yali akoze ebibi bingi ku alutaari ey'ekitambiro, omuli omuliro n'evvu ebitukuvu, naye yennyini kyeyava afiira mu vvu.
Olutalo okumpi ne Modeyini
9Kabaka Antiyooko n'ajja n'olwetumbu okulumba Buyudaaya ng'ayagala okukola akabi ku Bayudaaya okusinga kitaawe ke yabakola. 10Yuda bwe yakimanya, n'alagira abantu beegayirire Mukama emisana n'ekiro, abayambe era abataase, kubanga baali mu kabi ak'okuggyibwako Amateeka n'ensi yaabwe, n'Essinzizo ettukuvu, 11ne ku luno abayambe nga bw'abayamba bulijjo, abaali baakafuna akalembereza mu nsi yaabwe aleme kubaleka kuddamu kufugibwa bagwira abamuvuma. 12Okumalira ddala ennaku ssatu abantu ne bavuunama ku ttaka nga basiiba, nga bakaaba, nga basaba Mukama ow'ekisa abayambe. Awo Yuda n'ayogera eby'okubagumya, ng'abakubiriza okweteekateeka.
13Oluvannyuma Yuda n'ateesaamu mu kyama n'abantu abakulu mu ggwanga. N'asalawo okulumba kabaka, nga ne Katonda amukwatiddeko, okusinga lw'anaalinda eggye lya Antiyooko ne lizinda Buyudaaya, ne lizingiza Yerusaalemu. 14Ebinaava mu lutalo ng'amaze okubikwasa Omutonzi w'ensi, n'agumya basajja be balwane masajja, era beeweeyo okufiirira Amateeka n'Essinzizo ne Yerusaalemu, n'ensi yaabwe, era n'empisa zaabwe. Ne basiisira kumpi n'ekibuga Modeyini. 15Yuda bwe yamala okugamba abantu be ebigambo ebibazzaamu amaanyi nti: “Obuwanguzi buva eri Katonda”, n'agenda ekiro ekyo n'abavubuka abazira abalondemu, n'alumba olusiisira lwa kabaka, n'attayo abantu ng'enkumi bbiri, era n'atta n'enjovu yaabwe ekulemberamu, era n'omukuumi waayo. 16Buli omu mu lusiisira baaleka akwatiddwa ensisi, bo ne bavaayo nga bawangudde. 17Ekyo kyabaawo ng'obudde bunaatera okukya. Mukama ye yayamba Yuda n'amukuuma.
Antiyooko akola endagaano n'Abayudaaya
(Laba ne 1 Bamak 6:48-63)
18Kabaka bwe yalaba obuzira bw'Abayudaaya, n'asala amagezi ag'okuwamba ebifo byabwe ebikulu. 19N'alumba ekigo kyabwe ekinywevu eky'e Betizuuri. Kyokka ne bamugoba. N'addamu era ne bamuwangula. 20Yuda n'aweereza ab'omu kigo ekyo bye beetaaga. 21Naye omuserikale Omuyudaaya ayitibwa Rodoko, n'abbira abalabe ekyama. Bwe baamuzuula, n'akwatibwa n'attibwa. 22Kabaka n'agezaako ogwokubiri okuteeseganya n'abantu b'omu Betizuuri. Bwe baatuuka ku kukkaanya, ate n'avaayo, n'agenda alumba Yuda. Kyokka era n'awangulwa. 23Bwe yawulira nti Filipo gwe yali alese mu Antiyookiya okulabirira obwakabaka amujeemedde, n'asoberwa. Kyeyava asalawo okuteeseganya n'Abayudaaya, n'akkiriza bye basaba, era n'asuubiza okubeeranga omwenkanya gye bali. Bwe yamala okutegeeragana nabo, n'awaayo ekitambiro. Era n'awa Essinzizo ekirabo kinene okulaga bw'assaamu ekifo ekitukuvu ekitiibwa. 24Era n'ayaniriza Makkabeewo n'essanyu. Ebyo bwe byaggwa, kabaka n'alonda Hegemoonide okuba omufuzi w'ekitundu ekiri wakati w'ebibuga Putolemaayi ne Gerari. 25Ye n'alaga e Putolemaayi. Abaayo endagaano eyo n'ebakwasa obusungu, ne banyiiga nnyo, ne baagala n'okugimenyawo. 26Naye Lisiya n'ayimirira ku kadaala, n'ayogerera endagaano eyo nga bw'asobola. Bwe yamala okubawooyawooya ne bakkakkana, n'addayo mu Antiyookiya. Okulumba kwa Kabaka Antiyooko n'okuddayo kwe bwe byagenda bwe bityo.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 13: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.