Olubereberye 17

17
Akabonero ak'endagaano
1Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n'amulabikira n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu.#Lub 24:40, Yob 1:1, Mat 5:48 2Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa ezzadde lingi.”#Lub 13:16 3Ibulaamu ne yeeyala wansi ku ttaka, n'asinza Katonda. Katonda n'amugamba nti,#Lub 17:17, Kubal 16:22; 20:6 4“Laba, nkoze endagaano naawe. Oliba jjajja w'amawanga amangi.#Bar 4:11,12 5Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu;#17:5 Ibulayimu Mu Lwebbulaniya litegeeza “Jjajja w'amawanga amangi.” kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.#Nek 9:7, Bar 4:17 6Ndikuwa ezzadde lingi, era olivaamu amawanga ne bakabaka.#Lub 35:11 7Naanywezanga endagaano gye nkoze naawe, era n'ezzadde lyo eririddawo, okuba endagaano eteridiba emirembe gyonna. N'abanga Katonda wo, era Katonda w'ezzadde lyo.#Bag 3:17, Beb 11:16 8Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo, ensi eno mw'oli. Ensi yonna eya Kanani eriba ya zzadde lyo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.”#Lub 13:15, Kuv 6:7; 29:45, Leev 26:12, Zab 48:14; 105:11, Kub 21:7
9Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Ggwe n'ezzadde lyo munaakwatanga endagaano yange emirembe gyonna. 10Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, wakati wange naawe, n'ezzadde lyo: buli musajja mu mmwe anaakomolwanga. 11Era munaakomolwanga ekikuta ky'omubiri gwammwe; ako kanaabanga akabonero ak'endagaano wakati wammwe nange.#Bik 7:8, Bar 4:11 12Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga.#Kuv 12:48, Leev 12:3, Luk 1:59; 2:21 13Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe. 14Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga ab'amenye endagaano yange.”
15Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Mukazi wo tokyamuyitanga Salaayi, naye erinnya lye linaabanga Saala.#17:15 Saala Mu Lwebbulaniya litegeeza “Omumbejja.” 16Nange ndimuwa omukisa, era alikuzaalira omwana ow'obulenzi. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga; ne mu zzadde lye mulivaamu bakabaka.”#Lub 18:10; 35:11 17Ibulayimu n'alyoka yeeyala ku ttaka nga yeevuunise, n'aseka n'ayogera mu mutima gwe nti, “Oyo awezezza emyaka ekikumi (100) alizaalirwa omwana? Ne Saala awezezza emyaka ekyenda (90) alizaala?”#Lub 17:3; 18:12 18Ibulayimu n'agamba Katonda nti, “Waakiri nno Isimaeri abe mulamu, ansikire!” 19Katonda n'ayogera nti, “Nedda, Saala mukazi wo alikuzaalira omwana ow'obulenzi, naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka.#17:19 Isaaka Mu Lwebbulaniya litegeeza nti “Aseka.” Naanywezanga endagaano yange naye, n'ezzadde lye emirembe gyonna, okuba endagaano eteriggwaawo.#Lub 18:10; 21:2 20Ne by'osabidde Isimaeri mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, era ndimuwa ezzadde lingi nnyo, ndimufuula eggwanga eddene, era alivaamu abalangira kkumi na babiri.#Lub 16:10; 21:13,18 21Naye endagaano yange n'aginywezanga na Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu kiseera ekyateekebwawo, omwaka ogujja.”#Lub 21:2; 26:2-5 22Katonda bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n'ava awali Ibulayimu n'agenda.#Lub 35:13 23Ku lunaku olwo lwennyini, Ibulayimu n'akomola mutabani we Isimaeri, n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba. 24Ibulayimu yali awezezza emyaka kyenda mu mwenda (99) we yakomolerwa; 25ate mutabani we Isimaeri yali awezezza emyaka kkumi n'esatu (13). 26Ibulayimu ne mutabani we Isimaeri, baakomolebwa ku lunaku lwe lumu, 27wamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bannamawanga.

S'ha seleccionat:

Olubereberye 17: LBR

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió