Olubereberye 15

15
Katonda akola endagaano ne Ibulaamu
1Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti, “Totya, Ibulaamu; nze ngabo yo, era ndikuwa empeera ennene ennyo.”#Lub 26:24, Zab 3:3; 18:2, Luk 1:13,30, Beb 11:6 2Naye Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, ky'olimpa kiringasa ki nga sirina mwana? Alinsikira ye Erieza ow'e Ddamasiko? 3Laba, nze tompadde zadde, oyo eyazaalibwa mu nnyumba yange ye alinsikira.”#Lub 14:14 4Mukama n'amugamba nti, “Omuddu oyo taliba musika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini, ye alikusikira.”#Lub 17:16 5N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti, “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, eziririko, oba nga oyinza.” N'amugamba nti, “n'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.”#Lub 22:17, Kuv 32:13, Zab 147:4, Bar 4:18, Beb 11:12 6Ibulaamu n'akkiriza. Olw'ekyo Mukama n'amubalira obutuukirivu.#Zab 106:31, Bar 4:3,9,22, Bag 3:6, Yak 2:23 7N'amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ekya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira.”#Lub 11:31; 12:1 8Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, n'akakasiza ku ki nga ndigisikira?”#Balam 6:17, 2 Bassek 20:8, Is 7:11-13, Luk 1:18 9Mukama n'amugamba nti, “Ndeetera wano ente enkazi ewezezza emyaka esatu, n'embuzi enkazi ewezezza emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.” 10Ebyo byonna n'abireeta, buli nsolo n'agitemamu wakati ebitundu bibiri, n'abitegeka nga bitunuuliganye; naye ennyonyi zo n'atazitemamu.#Leev 1:17, Yer 34:18,19 11Ensega ne zijja ne zigwa ku nnyama; Ibulaamu n'azigoba. 12Awo enjuba bwe yali ng'egwa, Ibulaamu n'akwatibwa otulo otungi, n'entiisa n'emujjira olw'enzikiza eyali ekutte.#Lub 2:21 13Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaalyo, era liribaweereza, era liribonyaabonyezebwa okumala emyaka bina (400).#Kuv 1:11,12; 12:40, Bik 7:6 14Eggwanga eryo ezzadde lyo lye liriweereza, ndirisalira omusango, n'oluvannyuma ezzadde lyo ndiriggyayo nga lirina ebintu bingi.#Kuv 6:6; 12:36, Bik 7:7 15Naye ggwe oliba n'emirembe, era oliwangaala; bw'olifa oliziikibwa bulungi mu bantu bo.#Lub 25:8 16Ezzadde lyo lirikomawo mu nsi eno mu mulembe ogwokuna, kubanga okwonoona kw'Abamoli kuliba kuyitiridde.”#1 Bassek 21:26, Am 2:9, Mat 23:32
17Awo, enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ennyama y'ensolo ebyateekebwateekebwa. 18Ku lunaku olwo Mukama n'akola endagaano ne Ibulaamu, n'amugamba nti, “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Fulaati;#Lub 12:7; 13:15, Kuv 23:31, Ma 1:7, Yos 1:4, Nek 9:8, Is 27:12 19ng'otwaliddemu ensi ey'Omukeeni, ey'Omukenizi, ey'Omukadumooni, 20ey'Omukiiti, ey'Omuperizi, ey'Abaleefa, 21ey'Omwamoli, ey'Omukanani, ey'Omugirugaasi n'ey'Omuyebusi.”

S'ha seleccionat:

Olubereberye 15: LBR

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió