Olubereberye 11

11
Omunaala gwe Baberi
1Abantu ab'omu nsi yonna baalina olulimi lumu n'enjogera emu. 2Awo, bwe baali batambula nga bava ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi ya Sinali; ne batuula omwo.#Dan 1:2 3Ne bagambagana nti, “Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala.” Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebbumba mu kifo ky'ennoni. 4Ne bagamba nti, “Kale nno, twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka mu ggulu, twekolere erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.”#Ma 1:28 5Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abaana b'abantu bye bazimba.#Lub 18:21 6Mukama n'ayogera nti, “Laba, abantu bano lye ggwanga limu, bonna balina olulimi lumu; kino kye baagala era kye batandise okukola tekijja kubalema. 7Kale nno, tukke, tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeragana.”#Lub 1:26; 3:22, Is 6:8 8Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna; ne balekera awo okuzimba ekibuga. 9Erinnya ly'ekibuga kye lyava liyitibwa Baberi;#11:9: Baberi Mu Lwebbulaniya erinnya eryo liva mu kigambo ekitegeeza “Okutabulatabula.” kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna; n'okuva awo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
Abantu abaasibuka mu Seemu (11:10-26)
(1 Byom 1:24-27)
10Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi (100), amataba nga gamaze emyaka ebiri (2) okubaawo, n'azaala Alupakusaadi.#1 Byom 1:17-27 11Seemu bwe yamala okuzaala Alupakusaadi, n'awangaala emyaka emirala bitaano (500), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano (35), n'azaala Seera; 13Bwe yamala okuzaala Seera, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14Seera bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Eberi. 15Seera bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16Eberi bwe yaweza emyaka asatu mu ena (34) n'azaala Peregi. 17Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n'awangaala emyaka emirala bina mu asatu (430), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18Peregi bwe yaweza emyaka asatu (30) n'azaala Leewo. 19Peregi bwe yamala okuzaala Leewo, n'awangaala emyaka emirala bibiri mu mwenda (209), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20Leewo bwe yaweza emyaka asatu mu ebiri (32), n'azaala Serugi. 21Leewo bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala bibiri mu musanvu (207), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22Serugi bwe yaweza emyaka asatu (30), n'azaala Nakoli. 23Serugi bwe yamala okuzaala Nakoli n'awangaala emyaka emirala bibiri (200), era mwe yazaalira abaana abalala, ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24Nakoli bwe yaweza emyaka abiri mu mwenda (29) n'azaala Teera. 25Nakoli bwe yamala okuzaala Teera n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda (119), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26Teera bwe yaweza emyaka nsanvu (70), n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.#Yos 24:2
Ebyafaayo bya bajjajja ba Isiraeri
(11:27—50:26)
Ebyafaayo by'abantu abaasibuka mu Teera (11:27—25:18)
27Kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti. 28Kalani n'afiira mu kibuga Uli, mu nsi y'Abakaludaaya mwe yazaalirwa nga kitaawe akyali mulamu. 29Ibulaamu n'awasa Salaayi, ne Nakoli n'awasa Mirika, muwala wa Kalani, era nga ye kitaawe wa Isika.#Lub 17:15; 22:20 30Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. 31Teera n'atwala mutabani we Ibulaamu, ne Lutti, muzzukulu we, omwana wa Kalani, ne Salaayi muka mwana we Ibulaamu; ne basenguka okuva mu kibuga Uli, mu ensi ey'Abakaludaaya, ne bagenda mu nsi eya Kanani, ne basenga e Kalani.#Lub 15:7, Nek 9:7, Bik 7:4 32Teera n'afiira mu Kalani, ng'awangadde emyaka bibiri mu etaano (205).

S'ha seleccionat:

Olubereberye 11: LBR

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió