YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 9

9
Amawanga ag'omuliraano galisalirwa omusango
1Buno bwe bubaka bwa Mukama; amaliridde okubonereza ensi y'e Haduraki n'ekibuga ky'e Damasiko, kubanga ekibuga kya Siriya ekikulu, kya Mukama, ng'ebika bya Yisirayeli bwe biri ebibye.#Laba ne Yis 17:1-3; Yer 49:23-27; Am 1:3-5#Laba ne Yis 23:1-18; Ezek 26:1–28:26; Yol 3:4-8; Am 1:9-10 Mat 11:21-22; Luk 10:13-14 2Hamati ekiriraanye Haduraki nakyo kya Mukama, nga Tiiro ne Sidoni bwe biri ebibye, awamu n'amagezi gaabyo gonna. 3Tiiro kyezimbidde ekigo ekigumu, ne kyekuŋŋaanyiza ffeeza omungi ng'enfuufu, ne zaabu omungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. 4Naye Mukama alikiggyako ebyakyo byonna. Alisuula obugagga bwakyo mu nnyanja, era ekibuga kiryokebwa omuliro.
5Ekibuga ky'e Asukelooni kiriraba ebyo, ne kitya. Ne Gaaza kirirumwa nnyo. Era ne Asukelooni nakyo kirirumwa, kubanga byonna bye kyali kisuubira, biriba bifudde. Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo, ne Asukelooni tekiribaamu bantu.#Laba ne Yis 14:29-31; Yer 47:1-7; Ezek 25:15-17; Yol 3:4-8 Amo 1:6-8; Zef 2:4-7 6Abantu ab'omusaayi omutabule balibeera mu Asudoodi. Mukama agamba nti: “Nditoowaza Abafilistiya abo bonna abeekulumbaza. 7Ndibaziyiza okulya ennyama erimu omusaayi, n'ebyokulya ebirala eby'omuzizo. Abalisigalawo bonna, balifuuka kitundu kya bantu bange, babe ng'ab'omu Kika kya Yuda. Ab'omu Ekurooni balifuuka kitundu kya bantu bange, ng'Abayebusi#9:7 Abayebusi: Be bantu abaasangibwa mu Yerusaalemu, ne bagondera Kabaka Dawudi ng'awangudde ekibuga ekyo. bwe baafuuka. 8Ndikuuma ensi yange, ne nziyiza amagye okugiyitamu. Sirireka bantu bakambwe kwongera kunyigirizanga bantu bange, kubanga kaakano ndabye engeri abantu bange gye babonaabonamu.”
Kabaka alindirirwa okujja
9Musanyuke, musanyuke mmwe
abantu b'omu Siyooni!
Muleekaane olw'essanyu
mmwe ab'omu Yerusaalemu!
Mulabe, Kabaka wammwe
ajja gye muli,
ng'ajjira mu kitiibwa eky'omuwanguzi.
Muteefu era yeebagadde endogoyi,
yeebagadde omwana gw'endogoyi.#Laba ne Mat 21:5; Yow 12:15
10Mukama agamba nti:
“Ndiggya amagaali g'entalo mu Yisirayeli,
n'embalaasi mu Yerusaalemu,
era ndiggyawo omutego gw'obusaale
ogukozesebwa mu lutalo.
Kabaka oyo aliwa amawanga emirembe.
Alifuga okuva ku nnyanja
okutuuka ku nnyanja,
okuva ku mugga Ewufuraate,
okutuuka ensi gy'ekoma.”#Laba ne Zab 72:8
Okuzzaawo abantu ba Katonda
11Mukama agamba nti:
“Olw'endagaano gye nakola nammwe
eyakakasibwa n'omusaayi gw'ebitambiro,
abantu bammwe abaasibibwa
ndibaggya mu bunnya obutaliimu mazzi.#Laba ne Kuv 24:8
12Mukomeewo mmwe abasibe,
kaakano abalina essuubi,
mudde mu kigo ekigumu.
Olwaleero mbagamba nti:
ebyo byonna bye mwafiirwa
mu kubonaabona,
ndibibaddizaawo emirundi ebiri.
13Ndikozesa Buyudaaya
ng'omutego gw'obusaale,
ne Yisirayeli ng'obusaale.
Ndikozesa ab'omu Siyooni ng'ekitala
okulwanyisa ab'omu Buyonaani.”
14Mukama alirabikira
waggulu w'abantu be,
alirasa obusaale ne buvaayo
ng'okumyansa kw'eggulu.
Mukama Katonda
alifuuwa eŋŋombe.
Alikumbira mu kibuyaga
ow'omu bukiikakkono.
15Mukama Nnannyinimagye
alikuuma abantu be,
ne bazikiriza abalabe baabwe.
Nga bali mu lutalo,
balireekaana ng'abatamiivu.
Balitta abalabe baabwe,
omusaayi ne gukulukuta
ng'ogw'ebitambiro
ogujjuza ekibya,
ne gutobya ensonda z'alutaari.
16Ku lunaku olwo
Mukama Katonda
alinunula abantu be
ng'omusumba bw'awonya
endiga ze akabi.
Balimasamasa mu nsi ye
ng'amayinja ag'omuwendo mu ngule.
17Ensi eyo ng'eriba nnungi esikiriza!
Abalenzi n'abawala
tebalijula ŋŋaano
na mwenge musu.

Currently Selected:

ZEKARIYA 9: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 9