YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 8

8
Mukama asuubiza okuzzaawo Yerusaalemu
1Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti: 2“Nnumirwa nnyo ekibuga Yerusaalemu, era olw'okukyagala ennyo, kyenva nsunguwalira abalabe baakyo. 3Nja kukomawo mu Yerusaalemu ekibuga kyange ekitukuvu, nkibeerengamu. Kinaayitibwanga Kibuga Kyesigwa, era Lusozi lwa Mukama Nnannyinimagye, Olusozi Olutukuvu. 4Abakadde abasajja n'abakazi abatambula nga bakutte emiggo mu ngalo olw'okuba nga bakaddiye nnyo, baliddamu okutuula mu mpya za Yerusaalemu. 5Era enguudo zaakyo ziriddamu okujjula abaana abalenzi n'abawala abazannyiramu.
6“Ekyo abantu b'eggwanga lino abasigaddewo bayinza okukiraba ng'ekitasoboka, naye nze nkisobola. 7Ndinunula abantu bange, ne mbaggya mu nsi ez'ebuvanjuba n'ez'ebugwanjuba gye baatwalibwa, 8ne mbakomyawo mu Yerusaalemu. Baliba bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe, nga mbafuga n'obwesigwa n'amazima.
9“Mube ba maanyi mmwe, abawulira kaakano ebigambo bino, abalanzi bye baayogera kasookedde musingi gutandikibwawo, okuzimba obuggya Essinzizo lyange. 10Ekiseera ekyo nga tekinnabaawo, tewaali kupangisa bantu wadde ensolo, era tewaali afuluma, wadde ayingira nga teyeeraliikirira mulabe, kubanga nakyawaganya abantu. 11Naye kaakano abantu b'eggwanga lino abasigaddewo sikyabayisa nga bwe nabayisanga edda. 12Banaasiganga ensigo nga bali mirembe. Emizabbibu ginaabalanga ebibala byagyo, ettaka linaabazanga ebirime, n'enkuba eneetonnyanga. Ndiwa abantu b'eggwanga lino abasigaddewo ebirungi ebyo byonna. 13Mmwe ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, ab'amawanga amalala baakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Naye kaakano nja kubanunula mmwe, abantu abo bakozesenga erinnya lyammwe nga bawa omukisa. Kale temutya, naye mube ba maanyi.”
14Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Bajjajjammwe bwe bansunguwaza, namalirira okubabonereza, era sakyusa kirowoozo kyange, wabula nakituukiriza. 15Naye kaakano mmaliridde okuwa abantu b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya omukisa. N'olwekyo temutya. 16Bino bye muteekwa okukolanga: buli omu abuulirenga munne amazima. Mu mbuga z'amateeka, musalenga emisango mu bwenkanya mu ngeri ereeta emirembe.#Laba ne Beef 4:25 17Mulemenga kulowooza mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe. Mulemenga kulayira bya bulimba, kubanga nkyawa obulimba n'obutali bwenkanya, n'obukambwe.”
18Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti: 19“Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'ogwokutaano, n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'ogw'ekkumi, kulifuuka ennaku enkulu ez'okusanyuka n'okujaguza mu bantu b'omu Buyudaaya. Kale mwagalenga amazima era n'emirembe.”
20Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu ababeera mu bibuga ebingi ne bajja e Yerusaalemu. 21Ab'omu kibuga ekimu baligamba ab'omu kibuga ekirala nti: ‘Mujje tugende tusinze Mukama Nnannyinimagye, era tumusabe omukisa. Nange nja kugenda.’ 22Amawanga ag'amaanyi n'abantu bangi balijja e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye, n'okumusaba omukisa. 23Mu nnaku ezo, abantu kkumi ab'amawanga amalala, n'ab'eddiini endala, balyekwata ku Muyudaaya, ne bagamba nti: ‘Twagala tugende naawe, kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ”

Currently Selected:

ZEKARIYA 8: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 8