YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 6

6
Amagaali ana
1Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba amagaali ana, nga gava wakati w'ensozi bbiri ez'ekikomo. 2Eggaali erisooka lyali lisikibwa embalaasi emmyufu, eryokubiri nga lisikibwa embalaasi enzirugavu,#Laba ne Kub 6:4,5 3eryokusatu nga lisikibwa embalaasi enjeru, n'eryokuna nga lisikibwa embalaasi ez'amabomboola.#Laba ne Kub 6:2 4Awo malayika eyali ayogera nange ne mmubuuza nti: “Mukama wange, amagaali ago gategeeza ki?”
5N'anziramu nti: “Ezo ze mbuyaga ennya, ezaakava mu maaso ga Mukama w'ensi yonna.”#Laba ne Kub 7:1 6Eggaali erisikibwa embalaasi enzirugavu lyali liraga mu bukiikakkono, n'embalaasi enjeru nga zigoberera. Embalaasi ez'amabomboola zaali ziraga mu nsi ey'omu bukiikaddyo. 7Embalaasi ezo ez'amabomboola zaavaayo nga zaagala nnyo okugenda okutalaaga ensi. Malayika n'agamba nti: “Mugende mutalaage ensi.” 8Awo malayika n'aŋŋamba mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Embalaasi eziraze mu bukiikakkono zikkakkanyizza obusungu bwa Mukama.”
Ekiragiro eky'okutikkira Yoswa
9Awo Mukama n'ampa obubaka buno nti: 10“Twala ebirabo ebireeteddwa Eludiya ne Tobiya ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babilooni, ogende ku lunaku olwo lwennyini oyingire mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zefaniya. 11Otoole ku ffeeza ne zaabu gwe baleese, okolemu engule, ogitikkire ku mutwe gwa Ssaabakabona Yoswa, mutabani wa Yehozadaaki. 12Omutegeeze nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Omuntu ayitibwa Ttabi alikulira mu kifo mw'ali, era alizimba Essinzizo lya Mukama.#Laba ne Yer 23:5; 33:15; Zek 3:8 13Oyo ye alizimba Essinzizo eryo, n'aweebwa ekitiibwa ekya kabaka era ye alifuga abantu be. Walibaawo kabona ayimirira okumpi n'entebe ye ey'obwakabaka, ne bakolera wamu mu kuteesa okw'emirembe.’ 14Engule eyo eneebeeranga mu Ssinzizo lya Mukama, okujjuukirirangako Helemu#6:14 Helemu … Heeni: Mu Lwebureeyi: “Helem … Hen”, naye mu biwandiiko ebimu mu nnimi endala, waliyo “Heldai…” ne Tobiya ne Yedaaya, ne Heeni mutabani wa Zefaniya.”
15Awo abali ewala balijja ne bayamba okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama. Bwe lirimala okuzimbibwa obuggya, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma gye muli. Ebyo birituukirira, bwe mulinyiikira okuwulira ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe.

Currently Selected:

ZEKARIYA 6: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 6