YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 5

5
Omuzingo gw'ekitabo
1Era nate ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga. 2Malayika n'ambuuza nti: “Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.”
3Awo n'aŋŋamba nti: “Guwandiikiddwako ekikolimo ekijja okubuna ensi yonna. Ku ludda olumu, omuzingo guwandiikiddwako nti buli abba, aliggyibwa mu nsi. Ku ludda olulala guwandiikiddwako nti buli alimba ng'alayira, naye aliggyibwamu. 4Mukama Nnannyinimagye agamba nti alisindika ekikolimo ekyo, ne kiyingira mu nnyumba ya buli muntu abba, ne mu ya buli muntu alimba ng'alayira, era kiribeera mu nnyumba zaabwe, ne kizisaanyizaawo ddala.”
Omukazi mu kisero
5Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti: “Kale yimusa amaaso go olabe ekyo ekijja.” 6Ne mbuuza nti: “Kiki ekyo?” N'addamu nti: “Ekyo kisero, era kitegeeza ekibi ky'ensi yonna.”
7Ekisero kyaliko ekisaanikira ekikoleddwa mu kyuma ekizito. Awo ekisaanikira ne kibikkulwa, mu kisero nga mulimu omukazi atudde.
8Malayika n'agamba nti: “Omukazi ono kye kibi.” Awo n'amuzzaamu mu kisero, n'akibikkako ekisaanikira. 9Bwe nayimusa amaaso gange ne ndaba abakazi babiri abajja nga baseeyeeya mu bbanga, nga balina ebiwaawaatiro, ne babuuka nakyo mu bbanga.
10Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Ekisero bakitwala wa?” 11N'anziramu nti: “Bakitwala mu nsi y'e Sinaari okukizimbirayo ennyumba. Bw'eriggwa okuzimba ne bakiteeka omwo.”

Currently Selected:

ZEKARIYA 5: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 5